
24
124:1 Kubal 3:2N’empalo za batabani ba Alooni zaali zino. Batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 224:2 Leev 10:2, Kubal 3:4Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana: Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw’obwakabona. 324:3 2 Sam 3:17, 1 Byom 24:31Dawudi wamu ne Zadoki ow’oku batabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow’oku batabani ba Isamaali ne babasalamu ng’ebisanja byabwe bwe byali mu kuweereza kwabwe. 4Awo ne walabika abasajja abakulu ku batabani ba Eriyazaali bangi okusinga ab’oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baasalibwamu: ku batabani ba Eriyazaali kwaliko kkumi na mukaaga, emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, munaana. 5Bwe bati bwe baasalibwamu na bululu, emitindo gyonna wamu; kubanga waaliwo abakulu ab’omu kifo ekitukuvu n’abakulu ba Katonda, ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali. 624:6 1 Sam 22:20; 23:6, 1 Byom 18:16Awo Semaaya mutabani wa Nesaneri omuwandiisi ow’oku Baleevi, n’abawandiikira mu maaso ga kabaka b’abakulu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali n’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n’Abaleevi; ennyumba emu eya bakitaabwe ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali. 7Awo akalulu ak’olubereberye ne kamugwako Yekoyalibu, ak’okubiri Yedaya; 8ak’okusatu Kalimu, ak’okuna Seyolimu; 9ak’okutaano Malukiya; ak’omukaaga Miyamini; 1024:10 Luk 1:5ak’omusanvu Kakkozi, ak’omunaana Abiya; 11ak’omwenda Yesuwa; ak’ekkumi Sekaniya; 12ak’ekkumi n’akamu Eriyasibu, n’ak’ekkumi n’obubiri Yakimu; 13ak’ekkumi n’obusatu Kuppa, ak’ekkumi n’obuna Yesebeyabu; 14ak’ekkumi n’obutaano Biruga, ak’ekkumi n’omukaaga Immeri; 15ak’ekkumi n’omusanvu Keziri, ak’ekkumi n’omunaana Kapizzezi; 16ak’ekkumi n’omwenda Pesakiya, ak’amakumi abiri Yekezukeri; 17ak’abiri mu kamu Yakini, ak’abiri mu bubiri Gamuli; 18ak’abiri mu busatu Deraya, ak’abiri mu buna Maaziya. 19Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng’ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa mu mukono gwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde.
2024:20 1 Byom 23:13Ne ku batabani ba Leevi abalala: ku batabani ba Amulaamu, Subayeri; ku batabani ba Subayeri, Yedeya. 2124:21 1 Byom 23:17Ku Lekabiya: ku batabani ba Lekabiya, Issiya omukulu. 2224:22 1 Byom 23:18Ku Bayizukali, Seromosi; ku batabani ba Seromosi, Yakasi. 2324:23 1 Byom 23:19Ne batabani ba Kebulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow’okubiri, Yakaziyeri ow’okusatu, Yekameyamu ow’okuna. 2424:24,25 1 Byom 23:20Batabani ba Winziyeeri, Mikka; ku batabani ba Mikka, Samiri. 25Muganda wa Mikka, Issiya: ku batabani ba Issiya, Zekkaliya. 2624:26 1 Byom 23:21Batabani ba Merali; Makuli ne Musi: batabani ba Yaaziya; Beno. 27Batabani ba Merali; ku Yaaziya, Beno ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli. 2824:28 1 Byom 23:22Ku Makuli; Eriyazaali, ataazaala baana ba bulenzi. 2924:29 1 Byom 23:21Ku Kiisi; batabani ba Kiisi, Yerameeri. 3024:30 1 Byom 23:23,24Ne batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yerimosi. Abo be baali batabani b’Abaleevi ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. 3124:31 1 Byom 24:5,6Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki n’emitwe gy’ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n’Abaleevi; (ennyumba) za bakitaabwe ez’omukulu okufaanana eza muganda we omuto.