
22
122:1 Lub 28:17, 1 Byom 21:18,19,26,28, 2 Byom 3:1Awo Dawudi n’ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri. 222:2 1 Bassek 5:17; 9:20,21, 2 Byom 2:17Awo Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n’assaawo ab’amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda. 322:3 1 Bassek 7:47Dawudi n’ategeka ebyuma bingi olw’enninga n’enzigi ez’emizigo n’olw’ebigatta; n’ebikomo bingi ebitapimika; 422:4 1 Bassek 5:6n’emivule egitabalika: kubanga Abazidoni n’Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi. 522:5 1 Bassek 3:7, 1 Byom 29:1Dawudi n’ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n’okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n’ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
6Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri. 722:7 1 Bassek 8:17, 1 Byom 17:1,2, Zab 132:1-5Dawudi n’agamba Sulemaani mutabani we nti Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba. 822:8 1 Bassek 5:3, 1 Byom 28:3Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n’olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange: 922:9 2 Sam 12:24, 1 Bassek 4:25; 5:4, 1 Byom 22:18laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow’emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n’okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye: 1022:10 2 Sam 7:13,14, 1 Byom 28:6, Beb 1:5oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna. 11Kale, mwana wange Mukama abe naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako. 1222:12 1 Bassek 3:9,12, Zab 72:1Kyokka Mukama akuwe amagezi n’okutegeera, akukuutire ebya Isiraeri; olyoke okwate amateeka ga Mukama Katonda wo. 1322:13 Ma 31:6, 1 Byom 28:7Bw’otyo bw’onoolabanga omukisa, bw’oneekuumanga okukola amateeka n’emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n’amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka. 1422:14 1 Byom 29:4, 1 Byom 26:21,22Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n’ebikomo n’ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n’emiti n’amayinja ntegese; oyongereko ggwe. 15Era nate waliwo naawe abakozi b’emirimu bangi nnyo, abatema n’abakola emirimu egy’amayinja n’emiti, n’abantu bonna abalina amagezi ag’omulimu gwonna; 16zaabu ne ffeeza n’ebikomo n’ebyuma tebibalika; golokoka okole, era Mukama abeere naawe. 1722:17 1 Byom 28:1Era Dawudi n’alagira n’abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng’ayogera 1822:18 Yos 21:44; 23:1, 2 Sam 7:1, 1 Byom 23:25nti Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g’abantu be. 1922:19 1 Bassek 5:3; 8:6Kale munyweze omutima gwammwe n’emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekigwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.