
18
118:1-17 1 Sam 8:1-18Awo oluvannyuma lw’ebyo olwatuuka Dawudi n’akuba Abafirisuuti n’abawangula, n’aggya Gaasi n’ebyalo byako mu mukono gw’Abafirisuuti. 2N’akuba Mowaabu; Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuleeteranga ebirabo. 3Dawudi n’akuba Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng’agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati. 4Dawudi n’amunyagako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abatambula n’ebigere obukumi bubiri: Dawudi n’azitema enteega embalaasi zonna ez’amagaali, naye n’aterekako ez’amagaali kikumi. 5Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri. 6Awo Dawudi n’ateeka (ebigo) mu Busuuli obw’e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n’awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 7Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n’azitwala e Yerusaalemi. 818:8 1 Byom 22:3, 2 Byom 4:12,15,16Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n’aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo. 9Awo Toowu kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w’e Zoba, 10n’atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n’okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n’amukuba; kubanga Kadalezeri yalwananga ne Toowu; era ebintu ebya zaabu n’effeeza n’ebikomo eby’engeri zonna byali naye. 11Era n’ebyo kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, wamu n’effeeza n’ezaabu bye yanyaga mu mawanga gonna; Edomu ne Mowaabu n’abaana ba Amoni n’Abafirisuuti ne Amaleki. 1218:12 1 Sam 26:6Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’atta ku Baedomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo lukumi mu lunaana. 13N’ateeka ebigo mu Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi okuwangula buli gye yagendanga yonna.
14Dawudi n’afuga Isiraeri yenna; n’atuukiriza emisango n’eby’ensonga eri abantu be bonna. 1518:15 1 Byom 11:6Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w’eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza. 1618:16 2 Sam 20:25, 1 Byom 24:3,6Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi; 17ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w’Abakeresi n’Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu okwetooloola kabaka.