
16
116:1 1 Byom 15:1Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Katonda. 216:2,3 2 Sam 6:18,19Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama. 3N’agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja era n’abakazi, buli muntu omugaati n’omugabo ogw’ennyama n’ekitole eky’ezabbibu enkalu.
4Era n’assaawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, n’okujjukizanga n’okwebazanga Mukama, Katonda wa Isiraeri n’okumutenderezanga: 516:5 1 Byom 6:39Asafu omukulu, addirira Zekkaliya, Yeyeeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, nga balina entongooli n’ennanga; ne Asafu ng’alina ebitaasa nga bivuga nnyo; 6ne Benaya ne Yakaziyeeri bakabona nga balina amakondeere ennaku zonna mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
7Awo ku lunaku, olwo Dawudi kwe yasookera okulagira okwebaza Mukama n’omukono gwa Asafu ne baganda be. 816:8-22 Zab 105:1-15Mwebaze Mukama, mukaabirire erinnya lye;
Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza;
Mwogere ku by’amagero bye byonna.
10Mwenyumirize olw’erinnya lye ettukuvu;
Omutima gw’abo abanoonya Mukama gusanyuke.
1116:11 Zab 27:8Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
Munoonye amaaso ge ennaku zonna.
1216:12 Zab 143:5Mujjukire eby’amagero bye bye yakola;
Eby’ekitalo bye, n’emisango egy’akamwa ke;
13Mmwe ezzadde lya Isiraeri omuddu we,
Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
1416:14 Lub 18:25, Is 26:9Oyo ye Mukama Katonda waffe:
Emisango gye gibuna ensi zonna.
15Mujjukire endagaano ye ennaku zonna.
Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi:
16(Endagaano) gye yalagaana ne Ibulayimu,
N’ekirayiro kye yalayirira Isaaka;16:16 Lub 17:2; 26:3, Luk 1:73
1716:17 Lub 35:11,12N’ekyo n’akinyweza eri Yakobo okuba etteeka,
Eri Isiraeri okuba endagaano eteriggwaawo:
1816:18 Lub 13:15; 15:18Ng’ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani,
Omugabo ogw’obusika bwammwe:
1916:19 Lub 23:4, Ma 7:7, Beb 11:9Bwe mwali abantu abatono omuwendo gwammwe;
Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
20Ne batambulatambulanga mu mawanga agatali gamu.
Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
2116:21 Lub 12:17; 20:3Teyaganya muntu kuboonoona;
Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
2216:22 Lub 20:7Ng’ayogera nti Temukomanga ku abo be nnafukako amafuta,
So temukolanga bubi bannabbi bange.
2316:23-33 Zab 96:1-13Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
Mwolese obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
24Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
Eby’amagero bye mu bantu bonna.
2516:25 Zab 145:3Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo:
Era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
2616:26 Zab 115:4-8,15, Is 42:5; 44:24, Yer 10:11,12, 1 Kol 8:4Kubanga bakatonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi:
Naye Mukama ye yakola eggulu.
27Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge:
Amaanyi n’essanyu biri mu kifo kye.
2816:28 Zab 29:1Muwe Mukama, mmwe ebika eby’amawanga,
Muwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi.
2916:29 2 Byom 20:21, Zab 29:2Muwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye:
Muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge:
Musinze Mukama mu bulungi obw’obutukuvu.
30Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna:
Era n’ensi enywera n’okuyinza n’eteyinza kusagaasagana.
3116:31 Zab 93:1; 97:1; 99:1, Is 49:13, Kub 11:15,17Eggulu lisanyuke, era n’ensi ejaguze;
Boogere mu mawanga nti Mukama afuga.
3216:32,33 Zab 98:7,9Ennyanja ewuume, n’okujjula kwayo;
Ennimiro ejaguze, n’ebigirimu byonna;
33Emiti egy’omu kibira ne giryoka giyimba olw’essanyu mu maaso ga Mukama,
Kubanga ajja okusalira ensi emisango.
3416:34 Zab 106:1; 107:1; 118:1; 136:1Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3516:35 Bik 26:1716:35,36 Zab 106:47,48Mwogere nti Otulokole, ai Katonda ow’obulokozi bwaffe,
Otukuŋŋaanye otuwonye mu mawanga,
Okwebaza erinnya lyo ettukuvu,
N’okujaguliza ettendo lyo.
3616:36 Nek 5:13, Zab 41:13; 72:18,19, 1 Kol 14:16Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri,
Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama.
3716:37 1 Byom 16:4Awo n’aleka eyo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama Asafu ne baganda be, okuweererezanga mu maaso g’essanduuko obutayosangawo, ng’omulimu ogwa buli lunaku bwe gwayagalanga: 3816:38 1 Byom 26:4,10ne Obededomu ne baganda baabwe, nkaaga mu munaana; era ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa okuba abaggazi: 3916:39 1 Bassek 3:4, 1 Byom 15:11ne Zadoki kabona, ne baganda be bakabona, mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, 4016:40 Kuv 27:1; 29:38-41, Kubal 28:3-8okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n’akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri; 4116:41 1 Byom 6:33; 25:1,3,6, 2 Byom 5:13; 20:21, Ezer 3:11, Yer 33:11era wamu nabo Kemani ne Yedusuni, n’abalala abaalondebwa, abaayatulwa amannya gaabwe, okwebaza Mukama kubanga okusaasira kwe (kubeerera) emirembe gyonna; 42era wamu nabo Kemani ne Yedusuni nga balina amakondeere n’ebitaasa olw’abo abagenda okubikuba, era (nga balina) ebireeta ennyimba za Katonda: ne batabani ba Yedusuni okuba ku mulyango. 4316:43 2 Sam 6:19,20Abantu bonna ne bagenda buli muntu ewuwe: Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.