
15
115:1 2 Sam 6:17Awo Dawudi ne yeezimbira ennyumba mu kibuga kya Dawudi: n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. 215:2 Kubal 1:50; 4:15, Ma 10:8, 1 Byom 15:15,26Awo Dawudi n’ayogera nti Si kirungi omuntu yenna okusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n’okumuweerezanga ennaku zonna. 315:3 1 Bassek 8:1, 1 Byom 13:5; 15:12Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Isiraeri yenna e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde. 415:4-10 1 Byom 6:16-30Dawudi n’akuŋŋaanya batabani ba Alooni n’Abaleevi: 5ku batabani ba Kokasi; Uliyeri omukulu, ne baganda be kikumi mu abiri: 6ku batabani ba Merali; Asaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri; 7ku batabani ba Gerusomu: Yoweeri omukulu, ne baganda be kikumi mu asatu: 815:8 Kubal 3:30ku batabani ba Erizafani; Semaaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri: 9ku batabani ba Kebbulooni; Eryeri omukulu, ne baganda be kinaana: 10ku batabani ba Wuziyeeri; Amminadaabu omukulu, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri. 1115:11 1 Sam 22:20, 2 Sam 20:25, 1 Bassek 2:35, 1 Byom 6:8Dawudi n’ayita Zadoki ne Abiyasaali bakabona, n’Abaleevi, Uliyeri ne Asaya ne Yoweeri, Semaaya ne Eryeri ne Amminadaabu, 1215:12 1 Byom 15:1,3n’abagamba nti Mmwe muli mitwe gye nnyumba za bajjajjaabwe ez’Abaleevi: mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mulinnyise essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde. 1315:13 1 Byom 13:7,11Kubanga temwasooka kugisitula, Mukama Katonda waffe kyeyava atuwamatukira, kubanga tetwamunoonya ng’ekiragiro bwe kyali. 14Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri. 1515:15 Kuv 25:14, Kubal 4:15; 7:9Abaana b’Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Katonda ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako nga Musa bwe yalagira ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali. 16Dawudi n’agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n’ennanga n’ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n’essanyu. 1715:17 1 Byom 6:33,39,44Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya; 18era wamu nabo baganda baabwe ab’omutindo ogw’okubiri, Zekkaliya, Beni, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, Eriyaabu, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abaggazi. 19Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani, ne balondebwa, nga balina ebitaasa eby’ebikomo okuvuga; 20Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya, ne Benaya, nga balina entongooli ez’ekyalamosi; 21ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, ne Azaziya, nga balina ennanga ez’ekiseminisi, ez’okuleeterezanga. 22Ne Kenaniya omukulu w’Abaleevi ye yalabiriranga eby’okuyimba: ye yayigirizanga eby’okuyimba kubanga mutegeevu. 23Ne Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi ab’oku ssanduuko. 2415:24 Kubal 10:8, 1 Byom 16:6Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab’oku ssanduuko. 2515:25-28 2 Sam 6:12-15Awo Dawudi n’abakadde ba Isiraeri n’abaami b’enkumi ne bagenda okulinnyisa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n’essanyu: 2615:26 Kubal 23:1, Yob 42:8awo olwatuuka Katonda bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey’endagaano ya Mukama, ne bawaayo ente musanvu n’embuzi ennume musanvu. 27Dawudi n’ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n’Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n’abayimbi ne Kenaniya omukulu w’okuyimba wamu n’abayimbi: era Dawudi yali ayambadde ekkanzu eya bafuta. 2815:28 1 Byom 15:16Bwe batyo Isiraeri yenna ne balinnyisa essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’okwogerera waggulu n’eddoboozi ery’eŋŋombe n’amakondeere n’ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga. 2915:29 2 Sam 16:16Awo olwatuuka essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba kabaka Dawudi ng’azina era ng’azannya; n’amunyooma mu mutima gwe.