
14
114:1 2 Sam 5:11-25Kiramu kabaka w’e Ttuulo n’atuma ababaka eri Dawudi n’emivule n’abazimbi b’amayinja n’ababazzi, okumuzimbira ennyumba. 214:2 2 Sam 6:17Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe bwagulumizibwa waggulu, olw’abantu be Isiraeri.
3Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi e Yerusaalemi: Dawudi ne yeeyongera okuzaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. 414:4-7 1 Byom 3:5-8Era gano ge mannya g’abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu, Nasani ne Sulemaani; 5ne Ibukali ne Eriswa ne Erupereti; 6ne Noga ne Nefegi ne Yafiya; 7ne Erisaama ne Beeriyadda ne Erifereti.
8Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng’afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi: Dawudi n’akiwulira, n’abatabaala. 9Era Abafirisuuti baali bazze ne bazinda ekiwonvu Lefayimu. 10Dawudi n’abuuza Katonda ng’ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n’amugamba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo. 11Awo ne batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n’abakubira eyo; Dawudi n’ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n’omukono gwange, ng’amazzi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu. 1214:12 Ma 7:5,25Ne baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n’alagira ne babookya omuliro. 13Abafirisuuti ne bazinda ekiwonvu nate olw’okubiri. 14Dawudi n’abuuza nate Katonda; Katonda n’amugamba nti Totabaala okubagoberera: kyuka obaveeko, obatuukeko ng’abafuluma mu maaso g’emitugunda. 15Awo olunaatuuka bw’onoowulira eddoboozi ery’okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka otabaala: kubanga Katonda atabadde okukukulembera okukuba eggye ery’Abafirisuuti. 1614:16 Is 28:21Dawudi n’akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery’Abafirisuuti okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri. 1714:17 Ma 2:25Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n’aleeta entiisa ye ku mawanga gonna.