
13
1Awo Dawudi n’ateesa n’abaami b’enkumi n’ab’ebikumi, buli mukulu. 213:2 Kubal 35:2-5Dawudi n’agamba ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri nti Oba nga musiima bwe mutyo, era oba nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutume wonna wonna eri baganda baffe abasigaddewo mu nsi yonna eya Isiraeri, bakabona n’Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ebiriko ebyalo, bakuŋŋaanire gye tuli: 313:3 1 Sam 7:1,2; 14:18tukomyewo gye tuli essanduuko ya Katonda waffe: kubanga tetwagyebuuzangako kigambo mu mirembe gya Sawulo. 4Ekkuŋŋaaniro lyonna ne boogera nga banaakola bwe batyo: kubanga ekigambo kyali kirungi mu maaso g’abantu bonna. 513:5 Yos 13:3, 1 Sam 6:21; 7:1, 1 Bassek 8:65Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Sikoli akagga ak’e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko ya Katonda nga bagiggya e Kiriyasuyalimu. 613:6 1 Sam 4:413:6-14 2 Sam 6:2-11Dawudi n’ayambuka ne Isiraeri yenna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda, okukimayo essanduuko ya Katonda, Mukama atuula ku bakerubi, ayitibwa Erinnya lye nnyini. 7Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu: Uzza ne Akiyo ne bagoba eggaali. 813:8 1 Byom 15:16Dawudi ne Isiraeri yenna ne bazannyira mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna: nga bayimba era nga bakuba ennanga n’entongooli, n’ebitaasa n’ebisaala, n’amakondeere. 9Awo bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Uzza n’agolola omukono gwe okukwata essanduuko; kubanga ente zeesitadde. 1013:10 Leev 10:2, Kubal 4:15Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’amutta, kubanga yagolola omukono gwe ku ssanduuko: n’afiira eyo mu maaso ga Katonda. 11Dawudi n’anyiiga kubanga Mukama ng’awamatukidde Uzza: n’ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero. 12Dawudi n’atya Katonda ku lunaku olwo, ng’ayogera nti naakomyawo ntya essanduuko ya Katonda eka ewange? 13Awo Dawudi n’ataleeta ssanduuko okugireeta gy’ali mu kibuga kya Dawudi naye n’agikyamya mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 14Essanduuko ya Katonda n’emala emyezi esatu ng’eri n’aba Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n’awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina.