
11
111:1-3 2 Sam 5:1-3Awo Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, nga boogera nti Laba, tuli ba ku magumba go na mubiri gwo. 211:2 Ez 34:23Mu biro eby’edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wafulumyanga n’oyingiza Isiraeri: Mukama Katonda wo n’akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba omulangira w’abantu bange Isiraeri. 311:3 1 Sam 16:1,3,12,13, 1 Byom 12:23Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n’alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Samwiri. 411:4 Balam 19:10Awo Dawudi ne Isiraeri yenna ne bagenda e Yerusaalemi (ye Yebusi;) era Abayebusi, be b’omu nsi eyo, baali eyo. 5Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n’amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi. 611:6 2 Sam 8:16Dawudi n’ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’asooka okulinnya, n’afuuka mukulu. 7Dawudi n’abeera mu kigo; kyebaava bakiyita ekibuga kya Dawudi. 8N’azimba ekibuga enjuyi zonna, okuva e Miiro n’enjuyi zonna: Yowaabu n’addaabiriza ebitundu by’ekibuga ebyasigalawo. 9Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama ow’eggye ng’ali naye.
1011:10-11-41 2 Sam 23:8-39Era bano be baasinga obukulu mu bazira Dawudi be yalina, abeeraga nga ba maanyi eri ye mu bwakabaka bwe wamu ne Isiraeri yenna, okumufuula kabaka, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali ekya Isiraeri. 1111:11 1 Byom 12:18; 27:2Era guno gwe muwendo gw’ab’amaanyi Dawudi be yalina: Yasobeyamu, omwana w’Omukakumoni, omukulu w’abo amakumi asatu: yayimusa effumu lye okulwana n’ebikumi bisatu n’abatta omulundi gumu. 1211:12 1 Byom 27:4N’oluvannyuma lw’oyo Eriyazaali mutabani wa Dodo, Omwakowa, ow’oku basajja ab’amaanyi abasatu. 13Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammimu, era Abafirisuuti ne bakuŋŋaanira eyo okulwana, awaali omusiri ogwa sayiri; abantu ne badduka mu maaso g’Abafirisuuti. 1411:14 1 Sam 11:13Ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n’abalokola n’okuwangula okukulu. 15Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta eri olwazi eri Dawudi, mu mpuku ya Adulamu; eggye ly’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 16Era Dawudi yali ali ku kiddukiro mu biro ebyo, n’Abafirisuuti ab’omu kigo nga bali mu Besirekemu. 17Dawudi ne yeegomba n’ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi ag’omu luzzi olw’e Besirekemu, oluliraanye omulyango! 18Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw’e Besirekemu olwaliraana omulyango, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye Dawudi n’atakkiriza kunywako, naye n’agafuka eri Mukama, n’ayogera 19nti Katonda wange akiddize eri gye ndi nze okukola bwe ntyo: nnywe omusaayi gw’abasajja bano abavudde mu bulamu bwabwe? kubanga bagaleese nga bavudde mu bulamu bwabwe. Kyeyava agaana okuganywa. Ebyo abasajja abo ab’amaanyi abasatu bye baakola. 20Era Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abasatu: kubanga yayimusa effumu lye okulwana n’ebikumi bisatu n’abatta, n’ayatiikirira ku basatu. 21Ku abo abasatu yali n’ekitiibwa okusinga ababiri, n’afuuka omukulu waabwe: naye n’atenkana abasatu ab’olubereberye. 2211:22 1 Byom 27:5Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w’omuzira ow’e Kabuzeeri, eyali akoze eby’amaanyi, oyo n’atta batabani ba Alyeri, owa Mowaabu bombi: era n’aserengeta n’atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby’omuzira. 23Era n’atta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, obuwanvu bwe emikono etaano; era Omumisiri yali akutte mu ngalo ze effumu eryali ng’omuti ogulukirwako engoye; yaserengeta gy’ali ng’alina omuggo, n’asika effumu n’aliggya mu mukono gw’Omumisiri, n’amutta n’effumu lye ye. 24Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, n’ayatiikirira ku basajja abo ab’amaanyi abasatu. 25Laba, yali n’ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, naye n’atenkana abasatu ab’olubereberye: Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa be.
2611:26 1 Byom 27:7Era abasajja ab’amaanyi ab’omu ggye; Aaskeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu; 2711:27 1 Byom 27:8,10Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni; 2811:28 1 Byom 27:9,12Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanasosi; 2911:29 1 Byom 27:11Sibbekayi Omukusasi, Irayi Omwakowa; 3011:30 1 Byom 27:13,15Makalayi Omunetofa; Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa; 3111:31 1 Byom 27:14Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibeya ow’oku baana ba Benyamini, Benaya Omupirasoni; 32Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi, Abyeri Omwaluba; 33Azimavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni: 34batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali; 35Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, Erifali mutabani wa Uli; 36Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni; 37Kezulo Omukalumeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi; 38Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli; 39Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyatwaliranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya eby’okulwanyisa bye; 40Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; 4111:41 2 Sam 11:3, 1 Byom 2:36Uliya Omukiiti, Zabadi mutabani wa Akulayi; 42Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, omwami ow’omu Balewubeeni, n’amakumi asatu wamu naye; 43Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafati Omumisuni; 44Uzziya Omwasutaloosi, Sama ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri; 45Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne Yoka muganda we, Omutiizi; 46Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu; 47Eryeri ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.