Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 1 Peet 2:13Obajjukizenga okugonderanga abafuga n’abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi, 23:2 1 Kol 6:11, Bef 2:2; 5:8obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna. 3Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n’ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n’obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana. 43:4 Tit 2:11, Nge 8:31Naye obulungi bw’Omulokozi waffe Katonda n’okwagala kwe eri abantu bwe byalabika, 53:5 Bef 2:8,9; 5:26, Yok 3:5, 2 Tim 1:9n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw’okusaasira kwe, olw’okunaazibwa okw’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri n’okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu, 63:6 Yo 2:28gwe yatufukako olw’obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe; 73:7 Bar 3:24nga tumaze okuweebwa obutuukirivu olw’ekisa kye oyo, tulyoke tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 8Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: 93:9 1 Tim 4:7naye empaka ez’obusiru n’ebitabo ebirimu endyo z’okuzaalibwa n’ennyombo n’okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu. 103:10 2 Yok 10, Mat 18:15,16Omuntu omukyamu, bw’omalanga okumubuulirira omulundi ogw’olubereberye n’ogw’okubiri, omugaananga, 113:11 1 Tim 6:4,5ng’omanya ng’ali ng’oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango.
123:12 2 Tim 4:12Bwe ntumanga Atema gy’oli oba Tukiko, fuba okujja gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteesezza okumalira eyo ebiro eby’empewo. 133:13 Bik 18:24, 1 Kol 3:5,6Fuba okubasibirira Zeena ow’amateeka ne Apolo, baleme okubulwa ekintu. 143:14 Tit 2:14, Mat 7:19, Bef 4:28,29Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.
15Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.