Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
12:1 1 Tim 6:3, 2 Tim 1:13Naye ggwe yogeranga ebisaanira okuyigiriza okw’obulamu: 22:2 1 Tim 5:1abasajja abakadde balemenga kuba batamiivu, nga balimu ekitiibwa, nga beegendereza nga balina obulamu olw’okukkiriza, olw’okwagala, olw’okugumiikiriza: 32:3 1 Tim 3:11n’abakazi abakadde bwe batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, si abawaayiriza, so si abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebirungi; 4balyoke beegenderezesenga abakazi abato okwagalanga babbaabwe, okwagalanga abaana baabwe, 52:5 Bef 5:22okwegenderezanga, okuba n’obulongoofu, okukolanga emirimu mu nnyumba zaabwe, okuba n’ekisa, okugonderanga babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa: 6n’abavubuka bwe batyo obabuuliriranga okwegendereza: 72:7 1 Tim 4:12, 1 Peet 5:3mu bigambo byonna nga weeraganga ng’ekyokulabirako eky’ebikolwa ebirungi; mu kuyigiriza kwo ng’olaganga obugolokofu, okubaamu ekitiibwa, 82:8 1 Peet 2:15ebigambo eby’obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako. 92:9 Bef 6:5, 1 Tim 6:1, 1 Peet 2:18Buuliriranga abaddu okugonderanga bakama baabwe, okusiimibwanga mu byonna, obutayombanga; 102:10 Tit 1:3obutabbanga, naye okulaganga obwesigwa obulungi bwonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna. 11Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi, 122:12 Bef 1:4, 1 Yok 2:16nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n’obutuukirivu n’okutya Katonda, 132:13 1 Kol 1:7, Bar 5:2, Baf 3:20nga tulindirira essuubi ery’omukisa n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 142:14 Bag 1:4, 1 Tim 2:6, Bef 2:10, Zab 130:8, Kuv 19:5, Ma 14:2, Ez 37:23, 1 Peet 3:13eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
152:15 1 Tim 4:12Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.