Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
1Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 2mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza ebiro eby’emirembe n’emirembe nga tebinnabaawo; 31:3 Bef 1:9,10, 1 Tim 1:1,11naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri; 41:4 1 Tim 1:2eri Tito, omwana wange ggeregere ng’okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy’oli.
5Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira; 61:6 1 Tim 3:2-4omuntu bw’atabangako musango, ng’alina omukazi omu, ng’alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda. 71:7 1 Kol 4:1, 1 Peet 5:2, 2 Tim 2:24Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangako musango, ng’omuwanika wa Katonda; si mukakanyavu, si wa busungu, si ayombera ku mwenge, si akuba, si eyeegomba amagoba mu bukuusa; 8naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma; 91:9 2 Tim 2:1, 1 Tim 1:10, 2 Tim 4:3anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng’okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw’obulamu, era n’okusinga abayomba naye.
10Kubanga eriyo bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, abalimba, era okusinga ba mu bakomole, 111:11 Tit 3:6, Yok 10:12, 1 Peet 5:2abagwanira okuzibibwanga emimwa; kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw’amagoba ag’obukuusa. 12Omu ku bo, nnabbi waabwe bo, yagamba nti Abakuleete balimba ennaku zonna, ensolo embi, embuto engayaavu. 131:13 2 Tim 4:2Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obaboggoleranga n’obukambwe, balyoke babeere n’obulamu olw’okukkiriza, 141:14 1 Tim 4:7balemenga okuwulira enfumo ez’obulimba ez’Ekiyudaaya n’ebiragiro by’abantu abakyuka okuleka amazima. 151:15 Mat 15:11, Bar 14:20Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n’abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n’omwoyo byasiigibwa obugwagwa. 161:16 2 Tim 3:5Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi.