Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

12
112:1 Bar 6:11,13, 1 Peet 2:5, Yok 4:24Kyenvudde mbeegayirira, ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi. 212:2 Bef 4:23; 5:10,17, Bar 1:28, Bag 1:4So temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.
312:3 1 Kol 12:11, Bef 4:7Kubanga njogera, olw’ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. 412:4 1 Kol 12:12Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu: 512:5 1 Kol 12:27, Bef 4:25bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. 612:6 1 Kol 12:4Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng’ekisa kye twaweebwa bwe kiri, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky’okukkiriza kwaffe; 712:7 1 Peet 4:10,11oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; 812:8 Mat 6:3, 2 Kol 8:2; 9:7oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n’okunyiikira; asaasira, asaasirenga n’essanyu. 912:9 1 Peet 1:22, 1 Tim 1:5, Am 5:15Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n’obulungi. 1012:10 2 Peet 1:7, Baf 2:3Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne; 1112:11 Kub 3:15, Bik 18:25mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe; 1212:12 1 Bas 5:17musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba; 1312:13 Beb 13:2mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. 1412:14 Mat 5:44, Bik 7:59, 1 Kol 4:12Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga. 1512:15 Zab 35:12Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 1612:16 Nge 3:7, Bar 15:5; 11:20Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n’abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. 17Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna. 1812:18 Mak 9:50, Beb 12:14Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna. 1912:19 Ma 32:35, Leev 19:18, Mat 5:39, 2 Bas 1:6,7, Bar 13:4, Beb 10:30Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama. 2012:20 Nge 25:21,22, Mat 5:44Naye omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta, munywesenga: kubanga bw’okola bw’otyo, olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe. 21Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.