Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

10
1Ab’oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke. 210:2 Bik 22:3Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera. 310:3 Bar 9:31,32Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda. 410:4 Mat 5:17, Yok 3:18, Beb 8:13Kubanga Kristo ye nkomerero y’amateeka olw’okuweesa obutuukirivu buli akkiriza. 510:5 Leev 18:5, Bag 3:12Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo. 610:6 Ma 30:12,13Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;) 7newakubadde nti Ani alikka emagombe? (kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.) 810:8 Ma 30:14Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira: 910:9 2 Kol 4:5kubanga bw’oyatula Yesu nga ye Mukama n’akamwa ko, n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka: 10kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka. 1110:11 Is 28:16Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi. 1210:12 Bik 10:34; 15:9Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira: 1310:13 Yo 2:32kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka. 14Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira? 1510:15 Is 52:7era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey’ebirungi!
1610:16 Is 5:1Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe? 1710:17 Yok 17:20Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n’okuwulira mu kigambo kya Kristo. 1810:18 Zab 19:4Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala,
Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna,
N’ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z’ensi.
1910:19 Ma 32:21Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nti
Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga,
Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
2010:20 Is 65:1Era Isaaya aguma nnyo n’ayogera nti
Navumbulibwa abo abatannoonyanga,
Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.
2110:21 Is 65:2Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.