Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

8
18:1 Zek 2:13, Kaab 2:20Bwe Yabembula akabonero ak’omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa. 28:2 Mat 24:31Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.
38:3 Am 9:1, Kub 5:8Ne malayika omulala n’ajja n’ayimirira ku kyoto, ng’alina ekyotezo ekya zaabu; n’aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw’abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe. 48:4 Zab 141:2N’omukka gw’obubaane ne gulinnya wamu n’okusaba kw’abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda. 58:5 Leev 16:12, Kuv 19:16, Ez 10:2Malayika n’atwala ekyotezo; n’akijjuza omuliro ogw’omu kyoto, n’akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n’amaloboozi n’okumyansa n’ekikankano.
6Ne bamalayika omusanvu abalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.
78:7 Ez 38:22, Yo 2:30, Kuv 9:23-26Malayika ow’olubereberye n’afuuwa, ne waba omuzira n’omuliro ebitabuddwa n’omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n’ekitundu eky’okusatu eky’ensi ne kiggya, n’ekitundu eky’okusatu eky’emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.
88:8 Yer 51:25, Kuv 7:20,21Malayika ow’okubiri n’afuuwa; ng’olusozi olunene olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n’ekitundu eky’okusatu eky’ennyanja ne kifuuka musaayi; 9ne bifa ekitundu eky’okusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja, ebiramu, n’ekitundu eky’okusatu eky’ebyombo ne kizikirira.
108:10 Is 14:12, Dan 8:10Malayika ow’okusatu n’afuuwa, emmunyeenye ennene n’eva mu ggulu n’egwa ng’eyaka ng’omumuli, n’egwa ku kitundu eky’okusatu eky’emigga, ne ku nzizi z’amazzi. 11N’erinnya ly’emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n’ekitundu eky’okusatu eky’amazzi ne kifuuka abusinso: n’abantu bangi ne bafa olw’amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
128:12 Kub 6:12, Kuv 10:21Malayika ow’okuna n’afuuwa, n’ekitundu eky’okusatu eky’enjuba ne kikubibwa, n’ekitundu eky’okusatu eky’omwezi, n’ekitundu eky’okusatu eky’emmunyeenye; ekitundu eky’okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n’omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky’okusatu, n’ekiro bwe kityo.
138:13 Kub 9:12; 11:14Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng’ebuuka wakati w’eggulu, ng’eyogera n’eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw’amaloboozi agasigaddeyo ag’akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.