Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Kub 5:6; 1:16Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti
Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emmunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya ery’okuba omulamu, era oli mufu. 23:2 Ez 34:4Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange. 33:3 1 Bas 5:2, Kub 16:15, Mat 24:43Kale jjukira bwe waweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw’otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli. 43:4 Yud 23Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde. 53:5 Kuv 32:32,33, Zab 69:28, Kub 4:4; 6:11; 7:9, Baf 4:3, Mat 10:32Bw’atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n’akatono linnya lye mu kitabo ky’obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be. 6Alina okutu awulire Omwoyo ky’agamba ekkanisa.
73:7 Is 22:22, Yob 12:14Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti
Bw’ati bw’ayogera oyo omutukuvu, ow’amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, 83:8 1 Kol 16:9nti Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo) ng’olina amaanyi matono, n’okwata ekigambo kyange, so teweegaana linnya lyange. 93:9 Is 43:4; 45:14; 49:23; 60:14; 66:23Laba, ngaba ab’omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g’ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala. 103:10 Kub 13:10, Beb 10:36, Luk 21:19, 2 Tim 2:12Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi. 113:11 Kub 1:3; 2:5,10Njija mangu: nyweza ky’olina, omuntu yena aleme okutwala engule yo. 123:12 Ez 48:35, Bag 2:9, Is 62:2; 65:15, Kub 14:1; 22:4; 21:2Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n’erinnya lyange eriggya. 13Alina okutu awulire Omwoyo ky’agamba ekkanisa.
143:14 Zab 89:37, Nge 8:22, Yok 1:3, Bak 1:15Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti
Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow’amazima, olubereberye lw’okutonda kwa Katonda, 153:15 Kub 2:2, Bar 12:11nti Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng’onnyogoga oba obuguma. 16Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange. 173:17 Kos 12:8, 1 Kol 3:18; 4:8Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng’oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w’amaaso era ali obwereere: 183:18 1 Peet 1:7, Is 55:1, Kub 16:15nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n’engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez’obwereere bwo zireme okulabika; n’eddagala ery’okusiiga ku maaso go, olyoke olabe. 193:19 Nge 3:12, 1 Kol 11:32, Beb 12:6Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye. 203:20 Mak 13:35, Yok 14:23, Luk 12:36; 22:29Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. 213:21 Mat 19:28Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey’obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey’obwakabaka. 22Alina okutu awulire Omwoyo ky’agamba ekkanisa.