Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

22
122:1 Ez 47:1, Zek 14:8N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga, 222:2 Kub 21:21, Ez 47:12wakati w’oluguudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga. 322:3 Zek 14:11So teribaayo nate kikolimo: n’entebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga eneebeeranga omwo: n’abaddu be banaamuweerezanga, 422:4 Mat 5:8, Kub 3:12era banaamulabanga amaaso ge; era erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe. 522:5 Kub 21:25, Dan 7:18,27So teebenga kiro nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n’omusana gw’enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirembe n’emirembe.
622:6 Kub 1:1, 1 Kol 14:32N’aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima: era Mukama Katonda ow’emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu. 722:7 Kub 3:11; 1:3Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby’obunnabbi obw’ekitabo kino.
822:8 Kub 19:10Nange Yokaana nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g’ebigere bya malayika andaga bino. 9N’aŋŋamba nti Laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo bannabbi, n’abo abakwata ebigambo eby’ekitabo kino: sinza Katonda.
1022:10 Kub 10:4; 1:3, Dan 8:26; 12:4N’aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby’obunnabbi obw’ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi. 1122:11 Dan 12:10Ayonoona abeere ng’akyayonoona: era omugwagwa abeere ng’akyali mugwagwa: era n’omutuukirivu, abeere ng’akyakola obutuukirivu: era n’omutukuvu, abeere ng’akyali mutukuvu. 1222:12 Zab 28:4; 62:12, Yer 17:10, Kub 3:11, Is 40:10, Bar 2:6Laba, njija mangu; n’empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli. 1322:13 Is 44:6; 48:12, Kub 1:17, Beb 13:8Nze Alufa ne Omega, ow’olubereberye era omukoobezi, okusooka n’enkomerero. 1422:14 Lub 2:9; 3:22; 49:11Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n’obuyinza ku muti ogw’obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango. 1522:15 Kub 21:8,27, 1 Kol 6:9,10Ebweru ye eri embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n’akola obulimba.
1622:16 Kub 1:1,2; 5:5, Is 11:1,10, Luk 1:78Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw’ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey’enkya.
1722:17 Kub 21:6, Zek 14:8, Bar 8:23, Is 55:1, Yok 7:37Era Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.
1822:18 Kub 15:1,6, Ma 4:2; 12:32; 29:20Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby’obunnabi obw’ekitabo kino nti Omuntu yenna bw’ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino: 1922:19 Lub 2:9; 3:22era omuntu yenna bw’aggyangamu mu bigambo eby’ekitabo eky’obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
20Ategeeza bino ayogera nti Weewaawo: njija mangu. Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.
21Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n’abatukuvu. Amiina.