Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

20
120:1 2 Peet 2:4, Yud 1:6Ne Ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina ekisumuluzo ky’obunnya obutakoma n’olujegere olunene mu mukono gwe. 220:2 Lub 3:1, Zek 3:1, Kub 9:1; 12:9N’akwata ogusota, omusota ogw’edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n’agusibira emyaka lukumi, 320:3 2 Bas 2:9,10n’agusuula mu bunnya obutakoma n’aggalawo n’ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.
420:4 Dan 7:9,22,27, Luk 22:30, 1 Kol 6:2Ne ndaba entebe ez’obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n’emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw’okutegeeza kwa Yesu n’olw’ekigambo kya Katonda, n’abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi. 520:5 1 Kol 15:23, 1 Bas 4:16Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw’olubereberye. 620:6 Is 61:6, Kub 5:10Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw’olubereberye: okufa okw’okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.
7Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n’alyoka asumululwa mu kkomera lye, 820:8 Ez 7:2; 38:2,9,16era aligenda okulimba amawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng’omusenyu gw’ennyanja. 920:9 Kaab 1:6, 2 Bassek 1:10, Ez 38:22; 39:6Ne balinnya ku bugazi bw’ensi, ne bazingiza olusiisira olw’abatukuvu n’ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya. 1020:10 Lub 19:24, Kub 19:20N’omulyolyomi eyabalimbanga n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro n’ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabi ow’obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
1120:11 Mat 25:31-46, Dan 2:35Ne ndaba entebe ey’obwakabaka ennene enjeru, n’oyo eyali agituddeko, eggulu n’ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo. 1220:12 Dan 7:10, Kub 3:5, Baf 4:3, Bar 2:6Ne ndaba abafu, abakulu n’abato, nga bayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali. 1320:13 Yok 5:28,29N’ennyanja n’ereeta abafu abalimu, n’okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng’ebikolwa byabwe bwe byali. 1420:14 1 Kol 15:26,55N’okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro. Eyo kwe kufa okw’okubiri, ennyanja ey’omuliro. 1520:15 Dan 12:1, Mat 25:41Era omuntu yenna ataalabika ng’awandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.