Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

19
119:1 Zab 104:35, Kub 11:15Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira ng’eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyinza bye bya Katonda waffe: 219:2 2 Bassek 9:7, Ma 32:43, Zab 19:9; 119:137, Kub 16:7; 6:10kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu be mu mukono gw’oyo. 319:3 Zab 104:35, Is 34:10Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya. N’omukka gwe gunyooka emirembe n’emirembe. 419:4 Kub 5:14, Is 6:1, Zab 47:8; 106:48N’abakadde amakumi abiri mu bana n’ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 519:5 Zab 22:23; 115:13; 134:1; 135:1N’eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 619:6 Dan 10:6, Kub 11:15, Ez 1:24; 43:2, Zab 93:1; 97:1; 99:1Ne mpulira ng’eddoboozi ly’ekibiina ekinene, era ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga. 719:7 Zab 118:24, Kub 21:2,9Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’Omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. 819:8 Zab 45:14, Is 61:10N’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu. 919:9 Luk 14:15N’aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’Omwana gw’endiga. N’aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby’amazima ebya Katonda. 1019:10 Kub 12:11; 22:8, Bik 10:25,26Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.
1119:11 Ez 1:1, Zab 96:13, Kub 3:14, Is 11:4Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 1219:12 Dan 10:6, Kub 1:14; 2:18; 3:12Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 1319:13 Is 63:1, Yok 1:1Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 1419:14 Kub 17:14N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 1519:15 Kub 12:5; 14:20, Is 11:4; 63:3Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 1619:16 Ma 10:17, Dan 2:47, Kub 17:14, 1 Tim 6:15Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.
1719:17 Ez 39:4,17-20Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.
1919:19 Zab 2:2, Kub 16:16Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n’eggye lyabwe nga bakuŋŋaanye okulwana n’oyo eyali atudde ku mbalaasi n’eggye lye. 2019:20 Kub 13:11-17; 20:10, Dan 7:11,26Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow’obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti: 2119:21 Ez 39:17,20n’abaasigalawo ne battibwa n’ekitala ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n’ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.