Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

18
118:1 Kub 10:1, Ez 43:2Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 218:2 Dan 4:30, Kub 14:8, Is 13:21; 21:9; 34:11, Yer 9:11; 50:39; 51:8N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. 318:3 Is 23:17, Nak 3:4, Yer 25:15,27; 51:7Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe.
418:4 Is 48:20; 52:11, Yer 50:8; 51:6,9,45Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 518:5 Lub 18:20,21, Yer 51:9kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 618:6 Zab 137:8, 2 Bas 1:6, Yer 50:15,29Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 718:7 Yer 50:29, Is 47:7,8Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 818:8 Is 47:9, Yer 50:34, Kub 17:16Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 918:9 Ez 26:16; 27:30-35, Is 23:17, Kub 17:2Era bakabaka b’ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 1018:10 Dan 4:30, Ez 26:17, Is 21:9, Yer 51:8, Kub 14:8nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse. 1118:11 Ez 27:31,36N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 1218:12 Ez 27:12,13,22obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 1318:13 Ez 27:13n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’eŋŋaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 1518:15 Ez 27:31,36Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 1618:16 Kub 17:4nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 1718:17 Is 23:14, Ez 27:27-29kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 1818:18 Ez 27:32, Is 34:10ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 1918:19 Ez 26:19; 27:30-34Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 2018:20 Ma 32:43, Is 44:23, Yer 51:48Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.
2118:21 Ez 26:21, Dan 4:30, Yer 51:63,64Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja ddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 2218:22 Is 24:8, Ez 26:13Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe; 2318:23 Yer 7:34; 16:9; 25:10, Is 23:8; 47:9newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 2418:24 Yer 51:49, Mat 23:35, Kub 6:10; 17:6; 19:2Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.