Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

17
117:1 Yer 51:13, Kub 15:1Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 217:2 Is 23:17, Kub 14:8; 18:3bakabaka b’ensi gwe baayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw’obwenzi bwe. 317:3 Dan 7:7, Kub 13:1N’antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emmyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvvoozi, ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 417:4 Ez 28:13,16, Yer 51:7Omukazi ng’ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey’obwenzi bwe, 517:5 2 Bas 2:7, Dan 4:30, Kub 14:8; 16:19ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W’ABENZI ERA OW’EMIZIZO GY’ENSI. 617:6 Kub 18:24Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwewuunya kunene. 7Malayika n’aŋŋamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky’omukazi, n’eky’ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. 817:8 Dan 7:3; 12:1, Zab 69:28, Kub 13:1-3; 3:5Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n’okugenda mu kubula. N’abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky’obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate erijja. 917:9 Kub 13:1,18Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z’atuddeko; 10era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w’ali, omulala tannaba kujja; era bw’alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono. 1117:11 Kub 19:20N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w’omunaana, naye ye w’oku musanvu, era agenda kubula. 1217:12 Dan 7:20,24N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essaawa emu. 13Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza. 1417:14 Ma 10:17, Dan 2:47, Kub 19:14,16Abo balirwana n’Omwana gw’endiga, n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa. 1517:15 Is 8:7, Yer 47:2; 51:13N’aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w’atudde, be bantu n’ebibiina n’amawanga n’ennimi. 1617:16 Kub 12:13,16, Yer 51:7N’amayembe ekkumi ge walabye, n’ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro. 1717:17 Kub 10:7Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n’okuteesa awamu, n’okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira. 1817:18 Zab 2:2; 89:27, Kub 18:10N’omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b’ensi.