Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

16
116:1 Is 66:6, Zab 69:24, Yer 10:25, Zef 3:8Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu yeekaalu, nga ligamba bamalayika omusanvu nti Mugende, mufuke ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda ku nsi.
216:2 Ma 28:35, Kuv 9:10,11Ow’olubereberye n’agenda, n’afuka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo ebbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina enkovu y’ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.
316:3 Kuv 7:17-21Ow’okubiri n’afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng’ogw’omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n’ebyo ebyali mu nnyanja.
416:4 Kuv 7:19-24, Zab 78:44Ow’okusatu n’afuka ekibya kye mu migga ne mu nsulo z’amazzi, ne wabaawo omusaayi. 516:5 Zab 119:137; 145:17, Kuv 3:14, Ma 32:4, Is 41:4Ne mpulira malayika w’amazzi ng’ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw’otyo: 616:6 Is 49:26, Zab 79:3kubanga baafuka omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw’obawadde okunywa: basaanidde. 716:7 Zab 19:9; 119:137, Kub 9:13; 19:2Ne mpulira ekyoto nga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, gya mazima era gya nsonga emisango gyo.
8Ow’okuna n’afuka ekibya kye ku njuba; n’eweebwa okwokya abantu n’omuliro. 916:9 Kub 16:11,21; 9:20,21Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaanyi ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.
1016:10 Kuv 10:21, Is 8:21,22Ow’okutaano n’afuka ekibya kye ku ntebe y’obwakabaka ey’ensolo; obwakabaka bwayo ne buzikizibwa: ne beeruma ennimi zaabwe olw’obulumi, 11ne bavuma Katonda ow’omu ggulu olw’obulumi bwabwe n’olw’amabwa gaabwe, so tebeenenya mu bikolwa byabwe.
12Ow’omukaaga n’afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; n’amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe. 1316:13 Kuv 12:9; 13:1,11, Kuv 8:3, 1 Bassek 22:21-23Ne ndaba nga giva mu kamwa k’ogusota, ne mu kamwa k’ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w’obulimba, emizimu emibi esatu, nga giri ng’ebikere: 1416:14 Kub 13:13; 19:19kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b’ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna. 1516:15 Kub 3:18, 1 Bas 5:2(Laba, njija ng’omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n’akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.) 1616:16 Balam 5:19,31, Zek 12:11, 2 Bassek 9:27; 23:29Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.
1716:17 Is 66:6Ow’omusanvu n’afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y’obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa: 1816:18 Kuv 19:16, Dan 12:1, Kub 4:5; 8:5; 11:19ne wabaawo okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo. 1916:19 Dan 4:30, Is 51:17, Yer 25:15, Kub 14:10N’ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n’ebibuga eby’amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky’obukambwe bw’obusungu bwe. 2016:20 Kub 6:14; 20:11Na buli kizinga ne kidduka, so n’ensozi tezaalabika. 2116:21 Kuv 9:23N’omuzira omunene, buli mpeke ng’obuzito obwa ttalanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n’abantu ne bavvoola Katonda olw’ekibonyoobonyo eky’omuzira; kubanga ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo.