Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

15
115:1 Leev 26:21, Kub 6:17; 12:1; 11:18Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak’ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby’enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.
215:2 Kuv 4:6; 13:15; 5:8Ne ndaba ng’ennyanja y’endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n’ekifaananyi kyayo n’omuwendo gw’erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y’endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. 315:3 Ma 32:4, Yos 14:7, Kuv 15:1,11; 34:10, Zab 111:2; 139:14; 145:17, Yer 10:6,7, Kub 5:9Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. 415:4 Zab 86:9, Mal 1:11Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.
515:5 Kuv 40:34, Kub 11:19Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey’obujulirwa mu ggulu n’ebikkulwa: 615:6 Leev 26:21, Ez 28:13ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu. 715:7 Kub 4:6-8; 14:10Ekimu eky’oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n’emirembe. 815:8 1 Bassek 8:10, Ez 44:4Ne yeekaalu n’ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.