Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

13
113:1 Kub 11:7; 17:3,9,12, Dan 7:7Ogusota ne guyimirira ku musenyu gw’ennyanja.
Ne ndaba ensolo ng’eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n’emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag’obuvvoozi. 213:2 Dan 7:4-6, Kub 12:13N’ensolo gye nnalaba yali efaanana ng’engo, n’ebigere byayo ng’ebya ddubu, n’akamwa kaayo ng’akamwa k’empologoma: n’ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka, n’obuyinza obungi. 313:3 Kub 17:8Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n’ekiwundu eky’okufa ne kiwona: n’ensi zonna ne ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya; 4ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng’ensolo? era ani ayinza okulwana nayo? 513:5 Dan 7:8; 11:25, Kub 11:2; 12:6,14n’eweebwa akamwa akoogera ebikulu n’obuvvoozi; n’eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 6N’eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n’eweema ye, n’abatuula mu ggulu. 713:7 Kub 11:7, Dan 7:21N’eweebwa okulwana n’abatukuvu, n’okubawangula: n’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga. 813:8 Dan 12:1, Zab 69:28, Is 53:7, Kub 12:12; 3:5; 17:8Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky’obulamu eky’Omwana gw’endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 9Omuntu yenna bw’aba n’okutu awulire. 1013:10 Yer 15:2, Mat 26:52, Kub 14:12Omuntu yenna bw’ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw’atta n’ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n’ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu.
1113:11 Kub 16:13, Mat 7:15Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng’ag’omwana gw’endiga, n’eyogera ng’ogusota. 12N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinzisa ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa. 1313:13 Mat 24:24, 2 Bas 2:9,10, 1 Bassek 18:24-39N’ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g’abantu. 1413:14 Ma 13:2-4, Kub 19:20N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu. 1513:15 Dan 3:5,6N’eweebwa okuwa ekifaananyi eky’ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky’ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo. 1613:16 Kub 19:20N’ewaliriza bonna, abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’ab’eddembe n’abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe; 17era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly’ensolo oba omuwendo gw’erinnya lyayo. 1813:18 Kub 17:9; 15:2, 1 Bassek 10:14, Ezer 2:13Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw’ensolo; kubanga gwe muwendo gw’omuntu: n’omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.