Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

12
1N’akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng’ayambadde enjuba, n’omwezi nga guli wansi w’ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey’emmunyeenye kkumi na bbiri; 212:2 Is 66:7, Mi 4:10era ng’ali lubuto: n’akaaba ng’alumwa era ng’abalagalwa okuzaala. 312:3 Dan 7:7Ne walabika akabonero akalala mu ggulu, era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n’amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu. 412:4 Dan 8:10N’omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky’okusatu eky’emmunyeenye ez’omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g’omukazi, eyali agenda okuzaala, bw’alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we. 512:5 Is 66:7, Zab 2:9, Kub 19:15N’azaala omwana ow’obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma: n’omwana we n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda, n’eri entebe ye ey’obwakabaka. 612:6 Mat 2:13, Kub 11:2,3N’omukazi n’adduka n’atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisizenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.
7Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; 8ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. 912:9 Luk 10:18, Lub 3:1,14, Yok 12:31, Zek 3:1,2N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. 1012:10 Kub 11:15, Yob 1:11, Zek 3:1, Luk 22:31Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n’amaanyi n’obwakabaka bwa Katonda waffe, n’obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n’ekiro. 1112:11 Bar 8:37, Kub 7:14Nabo baamuwangula olw’omusaayi gw’Omwana gw’endiga, n’olw’ekigambo eky’okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa. 1212:12 Is 44:23; 49:13Kale musanyuke, eggulu n’abatuulamu. Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.
13Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow’obulenzi. 1412:14 Dan 7:25; 12:7Omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby’empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, g’aliisizibwa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera, mu maaso g’omusota. 15N’omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w’omukazi amazzi ng’omugga, gulyoke gumutwaze omugga. 16Ensi n’eyamba omukazi, ensi n’eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo. 1712:17 Kub 13:7; 14:12; 19:10, 1 Yok 5:10, Lub 3:15Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n’ab’omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu: