Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

10
110:1 Kub 4:3; 5:2Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde ekire; ne musoke ng’ali ku mutwe gwe n’amaaso ge ng’enjuba, n’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro; 2era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 310:3 Yer 25:30, Kos 11:10, Am 1:2n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’empologoma bw’ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo. 410:4 Dan 8:26; 12:4,9Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 510:5 Ma 32:40Malayika gwe nnalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, 610:6 Lub 14:19,22, Nek 9:6, Kuv 20:11, Zab 146:6, Kub 6:11, Dan 12:7n’alayira oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu, n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: 710:7 Am 3:7, Dan 9:6,10, Zek 1:6, Bik 3:21, Kub 11:15; 17:17naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. 8N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 910:9 Ez 2:8; 3:1-3Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N’aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki. 10Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa. 1110:11 Yer 1:10; 25:30, Dan 3:4; 7:14Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga n’ennimi ne bakabaka abangi.