Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Baf 2:18; 4:4Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkooya nze, naye kuleeta mirembe gye muli. 23:2 Kub 22:15Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala: 33:3 Bar 2:29kubanga ffe tuli abeekomola, abasinza ku bw’Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri: 43:4 2 Kol 11:18,22newakubadde nga nze nnyinza n’okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw’alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga: 53:5 Bik 26:5, Luk 1:59; 2:21nze eyakomolerwa ku lunaku olw’omunaana, ow’omu ggwanga lya Isiraeri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo; 6mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa. 73:7 Mat 13:44,46Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo. 8Naye era n’ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw’oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo, 93:9 Bar 3:21,22era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw’okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza: 103:10 Bar 6:3-5; 8:17, Bag 6:17ndyoke mmutegeere ye n’obuyinza obw’okuzuukira kwe n’okussa ekimu okw’ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe; 113:11 Bik 4:2, Kub 20:5,6bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu. 123:12 1 Tim 6:12, Bik 9:6Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu. 13Ab’oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, 143:14 1 Kol 9:24nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu. 153:15 1 Kol 2:6Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n’ekyo: 163:16 Bag 6:16naye kyokka, kye tutuuseeko, tutambulirenga mu ekyo.
173:17 1 Kol 11:1, 1 Bas 1:7, 1 Peet 5:3Ab’oluganda, mukkiriziganye wamu mungobererenga, era mulabirenga ku abo abatambula nga bwe mulina ffe okuba ekyokulabirako. 183:18 1 Kol 1:23, Bag 6:12Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab’omusalaba gwa Kristo: 193:19 Bar 16:18enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi. 203:20 Bef 2:6, Bak 3:1, Beb 12:22Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo: 213:21 1 Kol 15:43,49,53aliwaanyisa omubiri ogw’okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng’omubiri ogw’ekitiibwa kye, ng’okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n’okussa ebintu byonna wansi we.