Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Bef 3:1Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow’oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe, 21:2 Bak 4:17, 2 Tim 2:3ne Apofiya ow’oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’ekkanisa eri mu nnyumba yo: 31:3 Bar 1:7ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli.
4Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange, 5bwe nnawulira okwagala kwo n’okukkiriza kw’olina eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna; 61:6 Baf 1:9okussa ekimu okw’okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo. 71:7 2 Kol 7:4Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw’okwagala kwo, kubanga emyoyo gy’abatukuvu wagiwummuza, ow’oluganda.
8Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana, 9naye olw’okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu: 101:10 Bak 4:9, Bag 4:19, 1 Kol 4:15nkwegayirira olw’omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo, 11ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange: 12gwe nkomyawo gy’oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange: 131:13 Baf 2:30nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw’enjiri: 141:14 2 Kol 9:7, 1 Peet 5:2naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala. 15Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n’emirembe; 161:16 1 Tim 6:2nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow’oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe. 17Kale oba ng’ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze. 18Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo; 191:19 Bag 6:11, 2 Bas 3:17nze Pawulo mpandiise n’omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate. 20Kale, ow’oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo. 21Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng’olikola era okusinga bye njogera. 221:22 Baf 1:25; 2:24Naye era nate onnongoosereze aw’okusula: kubanga nsuubira olw’okusaba kwammwe muliweebwa okundaba.
231:23 Bak 1:7; 4:12Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza; 241:24 Bak 4:10,14ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange.
25Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe. Amiina.