Select Page
Swahili Bible
Welcome to the Swahili Bible Website.
swahili

Swahili.Bible

Welcome to Swahili Bible site! Swahili, also known as Kiswahili, is a Bantu language and the first language of the Swahili people. It is a lingua franca of the African Great Lakes region and other parts of eastern and southeastern Africa, including Tanzania, Kenya, Uganda, Rwanda, Burundi, Mozambique and the Democratic Republic of the Congo. It is estimated that around 15 Million users speak it. The New Testament was first translated into Swahili around 1850. United Bible Societies is working towards making this Bible available to all who need it.

Bible Society of Kenya

Bible Society of Kenya

Bible House, Langata Road
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983

Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

  • EKITABO EKY’OLUBEREBERYE EKYA MUSA, KYE BAYITA OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKY’OKUBIRI EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUVA
  • EKITABO EKY’OKUSATU EKYA MUSA, KYE BAYITA EBY’ABALEEVI
  • EKITABO EKYOKUNA EKYA MUSA, KYE BAYITA OKUBALA
  • EKITABO EKY’OKUTAANO EKYA MUSA, KYE BAYITA EKYAMATEEKA OLWOKUBIRI
  • EKITABO KYA YOSWA
  • EKITABO EKYABALAMUZI
  • EKITABO KYA LUUSI
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA SAMWIRI EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO KYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OLUBEREBERYE
  • EKITABO EKYEBYOMUMIREMBE GYA BASSEKABAKA EKY’OKUBIRI
  • EKITABO KYA EZERA
  • EKITABO KYA NEKKEMIYA
  • EKITABO KYA ESEZA
  • EKITABO KYA YOBU
  • ZABBULI
  • ENGERO
  • EKITABO KYA OMUBUULIZI
  • OLUYIMBA OLUSINGA ENNYIMBA
  • EKITABO KYA NNABBI ISAAYA
  • EKITABO KYA NNABBI YEREMIYA
  • OKUKUNGUBAGA KWA YEREMIYA
  • EKITABO KYA NNABBI EZEEKYERI
  • EKITABO KYA DANYERI
  • KOSEYA
  • YOWEERI
  • AMOSI
  • OBADIYA
  • YONA
  • MIKKA
  • NAKKUMU
  • KAABAKUUKU
  • ZEFFANIYA
  • KAGGAYI
  • ZEKKALIYA
  • MALAKI
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MATAYO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA MAKKO
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA LUKKA
  • ENJIRI NGA BWE YAWANDIIKIBWA YOKAANA
  • EBIKOLWA BY’ABATUME
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABARUUMI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABAKKOLINSO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAGGALATIYA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAEFESO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAFIRIPI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME ERI ABAKKOLOSAAYI
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI ABASESSALONIIKA
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OLUBEREBERYE ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO OMUTUME EY’OKUBIRI ERI TIMOSEEWO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI TITO
  • EBBALUWA YA PAWULO ERI FIREMOONI
  • EBBALUWA ERI ABAEBBULANIYA
  • EBBALUWA YA YAKOBO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OLUBEREBERYE PEETERO
  • EBBALUWA YA PEETERO EY’OKUBIRI PEETERO
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OLUBEREBERYE YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUBIRI YOKAANA
  • EBBALUWA YA YOKAANA EY’OKUSATU YOKAANA
  • EBBALUWA YA YUDA YUDA
  • OKUBIKKULIRWA KWA YOKAANA ATEGEEZA EBYA KATONDA OKUBIKKULIRWA


26

126:1 Kuv 20:4,5; 23:24, Leev 19:4, Kubal 33:52Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 226:2 Leev 19:30Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama.

326:3-5 Ma 11:13-15, Ez 34:25-27Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola; 4kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n’ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. 526:5 Am 9:13N’okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n’okunoga kunaatuukanga ku biro eby’okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe. 626:6 1 Bassek 4:25, Is 35:9, Yer 30:10, Zef 3:13Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n’ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe. 7Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era banaagwanga mu maaso gammwe n’ekitala. 826:8 Yos 23:10Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n’ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n’abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n’ekitala. 926:9 Lub 17:6,7, 2 Bassek 13:23Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe. 10Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby’edda olw’ebiggya. 1126:11 Ez 37:26-28, Kub 21:3Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n’obulamu bwange tebuubakyawenga. 1226:12 Kuv 6:7; 29:45, Yer 7:23, Ez 11:20, 2 Kol 6:16Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 1326:13 Leev 25:38, Ez 34:27Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby’ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye.

1426:14-39 Ma 28:15-68Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonna: 1526:15 2 Bassek 17:15era bwe munaagaananga amateeka gange, n’obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n’obutakola ne mutakolanga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange: 16nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n’omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga. 1726:17 Ma 28:25, Zab 106:41, Nge 28:1 Era naaboolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g’abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba. 18Era n’ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw’ebibi byammwe. 1926:19 Ma 28:23, Is 25:11Era naamenyanga amalala ag’obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng’ekyuma, n’ettaka lyammwe okuba ng’ekikomo: 2026:20 Is 49:4, Kag 1:10n’amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n’emiti egy’omu nsi tegiibalenga bibala byagyo. 21Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng’ebibi byammwe bwe binaabanga. 2226:22 Ma 32:24, Is 33:8, Ez 14:15, Zek 7:14Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey’omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n’amakubo gammwe ganaazikanga. 2326:23 Yer 5:3Era n’ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 2426:24 Zab 18:26kale nange naatambuliranga mu kuyomba nammwe; era naabakubanga emirundi musanvu, nze mwene, olw’ebibi byammwe. 2526:25 Ma 28:21, Yer 24:10, Ez 14:17,19, Am 4:10Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery’endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw’omulabe. 2626:26 Zab 105:16, Is 9:20, Ez 4:16Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw’omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzaani: era munaalyanga ne mutakutta.

27Era n’ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 2826:28 Is 66:15kale naatambuliranga mu kuyomba nammwe mu kiruyi; era naababonerezanga emirundi musanvu olw’ebibi byammwe. 2926:29 Ma 28:53, 2 Bassek 6:29Era munaalyanga ennyama ya batabani bammwe, n’ennyama ya bawala bammwe gye munaalyanga. 3026:30 2 Byom 34:3,4,7, Ez 6:3-5Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby’enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy’ebifaananyi byammwe; n’obulamu bwange bunaabakyawanga. 3126:31 Nek 2:3, Zab 74:3,6-8, Yer 6:20; 22:5; 26:6,9Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw’akaloosa kammwe. 3226:32 1 Bassek 9:8, Yer 9:11; 25:11Era naafuulanga ensi ddungu: n’abalabe bammwe abagituulamu banaagyewuunyanga. 3326:33 Ma 4:27; 28:64, Nek 1:8, Yer 9:16, Ez 12:15; 20:23, Zek 7:14Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n’ensi yammwe eneebanga ddungu, n’ebibuga byammwe binaazikanga. 3426:34,35 Leev 25:2, 2 Byom 36:21Awo ensi n’eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z’eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y’abalabe bammwe; awo ensi n’eryokanga ewummula n’esanyukira ssabbiiti zaayo. 35Ennaku zonna z’eneezikiranga eneewummulanga; okuwummula okwo kw’etabanga nakwo ku ssabbiiti zammwe nga mukyalimu. 3626:36 Lub 35:5, Leev 26:17, Yos 2:9,11, Ez 21:7N’abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z’abalabe baabwe: n’eddoboozi ly’akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng’omuntu bw’adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba. 3726:37 Yos 7:12,13, Balam 2:14Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng’abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g’abalabe bammwe. 38Era munaazikiriranga mu mawanga, n’ensi y’abalabe bammwe eneebalyanga. 3926:39 Ma 28:65, Ez 4:17, Kuv 30:13N’abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z’abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo. 4026:40 Kubal 5:6,7, 1 Bassek 8:33, Nek 9:2, Nge 28:13Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n’obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange, 4126:41 1 Bassek 21:29era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y’abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw’obutali butuukirivu bwabwe; 4226:42 Kuv 2:24, Zab 106:45, Ez 16:60awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n’endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n’endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi. 4326:43 Leev 26:34Era ensi banaagirekanga, n’esanyukira ssabbiiti zaayo, ng’ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw’obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n’obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange. 4426:44 Ma 4:31, 2 Bassek 13:23Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y’abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n’okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe: 4526:45 Leev 22:33, Ez 20:9naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y’e Misiri mu maaso g’amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama.

4626:46 Ma 6:1; 12:1Ago ge mateeka n’emisango n’ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n’abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n’omukono gwa Musa.

All rights reserved – The Bible Society of Uganda