Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 Luk 6:24Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw’ennaku ezijja ku mmwe. 25:2 Mat 6:19Obugagga bwammwe buvunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 35:3 Nge 16:27Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n’obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng’omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez’enkomerero. 45:4 Leev 19:13, Mal 3:5, Ma 24:14, Is 5:9, Yob 31:38-40Laba, empeera y’abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n’ebiwoobe by’abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow’eggye. 55:5 Luk 16:19,25, Yer 12:3Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegezzezza mu mitima gyammwe nga ku lunaku olw’okubaaga ebya ssava. 6Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya.
75:7 Ma 11:14, Yo 2:23, Zek 10:1, Yer 5:24, Luk 21:19, Beb 10:36Kale, ab’oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby’ensi eby’omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo. 85:8 Beb 10:25, 1 Bas 2:16; 3:13Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi. 9Temwemulugunyanga, ab’oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango: laba, omusazi w’emisango ayimiridde ku luggi. 105:10 Mat 5:12Mutwale ekyokulabirako, ab’oluganda, eky’okubonyaabonyezebwa n’okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 115:11 Dan 12:12, Yob 1:21,22, Zab 103:8; 111:4Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw’akola, nga Mukama wa kisa kingi n’okusaasira.
125:12 Mat 5:34-37Naye okusinga byonna, baganda bange, temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna: naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n’ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.
135:13 Zab 50:15, Bak 3:16Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? asabenga. Waliwo asanyuka? ayimbenga eby’okutendereza Katonda. 145:14 Mak 6:13Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b’ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: 155:15 Mak 16:18n’okusaba kw’okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako. 16Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. 175:17 1 Bassek 17:1, Luk 4:25, Bik 14:15Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n’asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n’etatonnya ku nsi emyaka esatu n’emyezi mukaaga. 185:18 1 Bassek 18:42N’asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n’emeza ebibala byayo.
195:19 Bag 6:1Baganda bange, omuntu yenna mu mmwe bw’akyamanga okuva mu mazima, omuntu n’amala amukyusa, 205:20 Zab 51:13, Nge 10:12, 1 Peet 4:8ategeerenga ng’akyusa alina ebibi mu bukyamu obw’ekkubo lye alirokola obulamu mu kufa, era alibikka ku bibi bingi.