Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 Bar 7:21, 1 Peet 2:11Entalo ziva wa n’okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe? 2Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, so temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba. 3Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikoze okwegomba kwammwe. 44:4 Luk 6:26, Bar 8:7, 1 Yok 2:15Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng’omukwano gw’ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw’ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda. 54:5 Kuv 20:3,5, Mat 6:24, Bag 5:17Oba mulowooza ng’ekyawandiikibwa kyogerera bwereere? Omwoyo gwe yatuuza mu ffe gwegomba okuleeta obuggya? 64:6 Nge 3:34, Yob 22:29, Mat 23:12, 1 Peet 5:5Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n’ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 74:7 Bef 6:12, 1 Peet 5:8,9Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga. 84:8 Zek 1:3, Is 1:16Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. 9Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 104:10 1 Peet 5:6Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11Temwogeraganangako bubi, ab’oluganda. Ayogera obubi ku w’oluganda, oba asalira omusango ow’oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw’osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w’omusango. 124:12 Mat 7:1, Bar 2:1; 14:4Eyateeka amateeka era omusazi w’omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n’okuzikiriza: naye ggwe asalira omusango munno ggwe ani?
134:13 Nge 27:1Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tulimalayo omwaka gumu, tulitunda, tuliviisa amagoba: 144:14 Luk 12:20, Zab 39:5,11naye nga temutegeera bya nkya. Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo: 154:15 Bik 18:21we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti. 16Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi. 174:17 Luk 12:47, Bar 14:23Kale amanya okukola obulungi n’atakola, kye kibi eri oyo.