Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Yak 1:19Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga tulisalirwa omusango ogusinga obunene. 23:2 Yak 1:26Kubanga mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n’omubiri gwe gwonna. 3Naye bwe tuteeka ebyuma eby’embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna. 4Laba, era n’amaato, newakubadde nga manene bwe gatyo, era nga gatwalibwa empewo ez’amaanyi, enkasi entono ennyo ye egagoba yonna yonna omugoba gy’asiima mu kwagala kwe. 5Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo. 63:6 Mat 15:11,18,19; 12:36,37N’olulimi muliro: ensi ey’obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w’ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena. 7Kubanga buli ngeri ey’ensolo n’ennyonyi n’ebyewalula n’ebyennyanja bifugika era byafugibwa abantu: 83:8 Zab 140:3naye olulimi siwali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta. 93:9 Lub 1:27Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda: 10mu kamwa akamu mwe muva okutendereza n’okukolima. Baganda bange, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo. 11Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n’agakaawa mu liiso erimu? 12Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag’omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
133:13 Yak 2:18, 1 Peet 2:12Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Alagenga mu mpisa ennungi ebikolwa bye mu magezi amawombeefu. 143:14 Bef 4:31Naye bwe muba n’obuggya obukambwe, n’okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima. 153:15 Yak 1:5,17Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. 16Kubanga awaba obuggya n’okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. 173:17 Beb 12:11Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi. 183:18 Is 32:17, Mat 5:9Era ekibala eky’obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.