Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
12:1 1 Kol 2:8Baganda bange, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow’ekitiibwa, ate ne muba n’okusosolanga mu bantu. 22:2 Beb 10:25Kubanga bw’ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby’obuyonjo, era n’omwavu ayambadde enziina n’ayingira, 3nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby’obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi, era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k’ebigere byange; 4nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abasazi b’ensonga ab’ebirowoozo ebibi? 52:5 1 Kol 1:26, Luk 12:21Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw’omu nsi okubeeranga n’obugagga obw’okukkiriza, n’okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala? 6Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini awasalirwa emisango? 7Singa bavuma erinnya eddungi lye muyitibwa? 82:8 Leev 19:18Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w’amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka, mukola bulungi. 92:9 Ma 1:17Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng’aboonoonyi. 102:10 Mat 5:19Kubanga omuntu yenna bw’aba akwata amateeka gonna, naye n’asobya mu limu, ng’azzizza omusango gwa gonna. 112:11 Kuv 20:13,14, Ma 5:17Kubanga oyo eyayogera nti Toyendanga, ate yayogera nti Tottanga. Kale bw’otoyenda naye n’otta, ng’ofuuse mwonoonyi w’amateeka. 122:12 Yak 1:25Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng’abagenda okusalirwa omusango n’amateeka ag’eddembe. 132:13 Mat 5:7; 18:30,34; 25:45,46Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira: okusaasira kujaguliza ku musango.
142:14 Mat 7:21; 21:29Kigasa kitya, baganda bange, omuntu bw’ayogera ng’alina okukkiriza, naye n’ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola? 15Bwe wabaawo ow’oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng’emmere eya buli lunaku tebamala, 162:16 1 Yok 3:17era omu ku mmwe bw’abagamba nti Mugende n’emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya? 17Era n’okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde. 182:18 Bag 5:6Naye omuntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olwebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange. 192:19 Mak 5:7Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi: era ne bassetaani bakkiriza, ne bakankana. 20Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng’okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa? 212:21 Lub 22:9,10,12Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto? 222:22 Beb 11:17Olaba ng’okukkiriza kwakolera wamu n’ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye: 23ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu n’akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu; n’ayitibwa mukwano gwa Katonda. 24Mulaba ng’omuntu aweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka. 25Era ne Lakabu omwenzi bw’atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n’abayisa mu kkubo eddala? 262:26 Yak 2:17Kuba ng’omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n’okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.