Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 1 Peet 1:1, Bik 15:23Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, mbalamusizza.
21:2 Bar 5:3-5, 1 Peet 1:6Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; 31:3 1 Peet 1:7nga mutegeera ng’okugezebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. 4Era omulimu gw’okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.
51:5 Nge 2:3-6Naye oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. 61:6 Mak 11:24Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky’abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng’ejjengo ery’ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. 7Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng’aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; 8omuntu ow’emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.
91:9 Yak 2:5Naye ow’oluganda omukopi yeenyumirizenga olw’obukulu bwe: 101:10 1 Peet 1:24era n’omugagga yeenyumirizenga olw’okukopawala kwe: kubanga aliggwaawo ng’ekimuli ky’omuddo. 111:11 Is 40:6,7Kubanga enjuba evaayo n’omusana omungi n’ewotosa omuddo; n’ekimuli kyagwo ne kigwa n’obulungi bw’ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n’omugagga bw’atyo bw’aliwotoka mu kutambula kwe.
121:12 Dan 12:12, 2 Tim 4:8, 1 Peet 5:4, 1 Kol 9:25, Kub 2:10Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala. 13Omuntu yenna bw’akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema: kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna: 141:14 Bar 7:7-10naye buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa. 15Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa. 16Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa. 171:17 1 Yok 1:5, Mat 7:11Buli kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow’ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newakubadde ekisiikirize eky’okukyuka. 181:18 Yok 1:13, 1 Peet 1:23Olw’okuteesa kwe yatuzaala n’ekigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’omwaka omubereberye ogw’ebitonde bye.
191:19 Mub 7:9Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala: 201:20 Bef 4:26kubanga obusungu bw’omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. 211:21 Bak 3:8, 1 Peet 2:1Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n’obubi obusukkiridde, mutoolenga n’obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe. 221:22 Mat 7:26, Bar 2:13Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. 23Kubanga omuntu yenna bw’aba omuwulizi w’ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng’omuntu eyeeraba amaaso ag’obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: 24kubanga yeeraba n’agenda, amangu ago ne yeerabira bw’afaananye. 251:25 Yak 2:12, Bar 8:2, Yok 13:17Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe. 261:26 Zab 34:13Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw’ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe, eddiini y’oyo teriiko kyegasa. 27Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.