Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

9
1Era n’endagaano ey’olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez’okusinzanga Katonda, n’ekifo ekitukuvu, eky’omu nsi. 29:2 Kuv 25:23,30,31Kubanga eweema yakolwa, ey’olubereberye eyalimu ekikondo ky’ettabaaza n’emmeeza n’emigaati egy’okulaga; awaayitibwa Awatukuvu. 39:3 Kuv 26:33Era ennyuma w’eggigi ery’okubiri yaliyo eweema eyitibwa Entukuvu ennyo; 49:4 Kuv 16:33; 25:16,21, Kubal 17:10eyalimu ekyoterezo ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n’omuggo gwa Alooni ogwaloka, n’ebipande eby’endagaano; 59:5 Kuv 25:18; 26:34ne kungulu ku yo bakerubi ab’ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey’okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu. 69:6 Kubal 18:3,4Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey’olubereberye obutayosa, nga batuukiriza emirimu egy’okuweereza; 79:7 Kuv 30:10, Leev 16:2,14,15naye mu eri ey’okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yekka, omulundi gumu buli mwaka, si awatali musaayi, gw’awaayo ku lulwe ye n’olw’obutamanya bw’abantu: 89:8 Beb 10:19Omwoyo Omutukuvu ng’ategeeza kino, ng’ekkubo eritwala mu kifo ekitukuvu terinnalabisibwa, ng’eweema ey’olubereberye ekyayimiriddewo; 99:9 Beb 10:1,2eyo kye kifaananyi olw’ebiro ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne ssaddaaka ebiweebwayo ebitayinza kumutuukiriza oyo aweereza mu bigambo by’omwoyo, 109:10 Leev 11:2; 15:18, Kubal 19:13kubanga ze mpisa ezaalagirwa ez’omubiri obubiri (era awamu n’ez’okulya n’ez’okunywa n’ez’okunaaba okutali kumu) ezaateekebwawo okutuusa ku biro eby’okudda obuggya.
119:11 Beb 6:20; 10:1Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow’ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n’ayita mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno, 12so si lwa musaayi gwa mbuzi n’ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n’ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo. 139:13 Leev 16:3,14,15, Kubal 19:9,17Kuba oba ng’omusaayi gw’embuzi n’ente ennume n’evvu ly’ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri; 149:14 1 Peet 1:18,19, 1 Yok 1:7, Kub 1:5, 1 Kol 15:45, Beb 6:1omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw’Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu? 159:15 Beb 12:24, 1 Tim 2:5Era ye kyava abeera omubaka w’endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw’okununula mu byonoono eby’omu ndagaano ey’olubereberye, abayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw’obusika obutaggwaawo. 16Kubanga awaba endagaano ey’obusika, kigwana okubaawo okufa kw’oyo eyagiragaana. 17Kubanga endagaano ey’obusika enywerera awaba okufa: kubanga yali etuukirizza ekyagiragaanyisa eyagiragaana ng’akyali mulamu? 18Era n’endagaano ey’olubereberye kyeyava erema okusookebwa awatali musaayi. 199:19 Kuv 24:3, Leev 14:4, Kubal 19:6Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng’amateeka bwe gali, n’atwalanga omusaayi gw’ennyana n’embuzi, wamu n’amazzi n’ebyoya by’endiga ebimyufu n’ezoobu, n’amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna, 209:20 Kuv 24:6-8, Mat 26:28ng’ayogera nti Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira. 219:21 Leev 8:15,19Era nate eweema n’ebintu byonna eby’okuweereza n’abimansirangako omusaayi bw’atyo. 229:22 Leev 17:11, Bef 1:7Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.
239:23 Beb 8:5Kale ebifaananyi by’ebyo eby’omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n’ebyo, naye eby’omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo. 249:24 Beb 11:12, 1 Yok 2:1Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekyafaanana ng’ekyo eky’amazima; naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe: 25so si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asinga obukulu bw’ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe; 269:26 1 Kol 10:11, Bag 4:4kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw’ensi: naye kaakano omulundi gumu ku nkomerero y’emirembe alabise okuggyawo ekibi olw’okwewaayo yennyini. 279:27 Lub 3:19Era ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw’okwo musango; 289:28 Is 53:12, Baf 3:20, Beb 10:10; 12:14, 2 Tim 4:8, 1 Peet 2:24era ne Kristo bw’atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by’abangi, alirabika omulundi ogw’okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw’obulokozi.