Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

8
18:1 Beb 4:14Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw’atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Obukulu obw’omu ggulu, 2omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’amazima, Mukama gye yasimba, si muntu. 3Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw’omulimu ogw’okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka: kyekiva kimugwanira n’oyo okubeera n’ekintu eky’okuwaayo. 4Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n’akatono, nga waliwo abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe gali; 58:5 Bak 2:17, Kuv 25:40abaweereza eby’ekifaananyi n’ekisiikirize eky’ebyo eby’omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng’agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng’ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi. 68:6 Beb 7:22; 12:24, 2 Kol 3:6Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw’ali omubaka w’endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw’ebyasuubizibwa ebisinga obulungi. 7Kuba endagaano eri ey’olubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandinoonyezebbwa bbanga ery’ey’okubiri. 88:8 Yer 31:31-34, Beb 10:16,17Kubanga bw’abanenya ayogera nti
Laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama,
Bwe ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isiraeri era n’ennyumba ya Yuda;
98:9 Kuv 19:5,6Si ng’endagaano gye nnalagaana ne bajjajja baabwe
Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’Emisiri:
Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange,
Nange ne mbaleka okubalaba, bw’ayogera Mukama.
10Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isiraeri
Oluvannyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukama;
Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe,
Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika;
Nange nnaabeeranga Katonda gye bali,
Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:
11So buli muntu tebaliyigiriza munne,
Na buli muntu muganda we, ng’ayogera nti Manya Mukama:
Kubanga bonna balimmanya,
Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo.
12Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe,
N’ebibi byabwe siribijjukira nate.
138:13 Bar 10:4Bw’ayogera nti Endagaano empya ey’olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n’okuggwaawo.