Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

7
17:1 Lub 14:17-20Kubanga Merukizeddeeki oyo, kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng’akomawo ng’ava okutta bakabaka, n’amusabira omukisa, 2era Ibulayimu gwe yagabira ekitundu eky’ekkumi ekya byonna (eky’oluberereberye, mu kutegeezebwa, kabaka wa butuukirivu, era eky’okubiri, kabaka w’e Ssaalemi, ye kabaka ow’emirembe; 37:3 Zab 110:4atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y’obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow’olubeerera ennaku zonna.
4Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky’ekkumi ku munyago ogw’okwebonaanya. 57:5 Kubal 18:21N’abo ab’omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby’ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubadde ng’abo bava mu ntumbwe za Ibulayimu: 6naye oyo, atabalibwa mu kika kyabwe, yasolooza Ibulayimu n’asabira omukisa nnannyini byasuubizibwa. 7Naye, tekyegaanika n’akatono, omuto yasabirwa omukulu omukisa. 8Era mu ekyo abaweebwa ebitundu eby’ekkumi be bantu abafa; naye mu kiri abiweebwa ye oyo ategeezebwa nga mulamu. 9Era, okwogera bwe kuti, ne Leevi, aweebwa omusolo, yaguweerayo mu Ibulayimu; 10kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
11Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi (kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo), kiki ekyetaaza nate kabona ow’okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n’atabalirwa mu ngeri ya Alooni? 12Kubanga obwakabona bwe buwaanyisibwa, era n’amateeka tegalema kuwaanyisibwa. 13Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutavanga muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto. 147:14 Lub 49:10, Is 11:1Kubanga kitegeerekese nga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky’atayogerako bigambo bya bakabona. 15N’ebyo byeyongera nnyo okutegeerekeka, oba nga wayimuka kabona ow’okubiri ng’ekifaananyi kya Merukizeddeeki bwe kiri, 16atalondebwa ng’amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky’omubiri, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutakutuka: 177:17 Beb 5:6kubanga ategeezebwa nti
Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.
18Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw’obunafu n’obutagasa bwakyo 197:19 Beb 9:9(kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza), essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda. 20Era bwe wataabula kulayira kirayiro 21(kubanga bo baafuulibwa bakabona awatali kirayiro; naye oyo awamu n’ekirayiro yafuulibwa oyo amwogerako nti
Mukama yalayira, era talyejjusa, nti
Oli kabona okutuusa emirembe gyonna);
227:22 Beb 8:6; 12:24era ne Yesu bwe yafuuka bw’atyo omuyima w’endagaano esinga obulungi. 23Nabo bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobera okubeereranga: 24naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, alina obwakabona obutavaawo. 257:25 Bar 8:34, 1 Yok 2:1Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.
267:26 Beb 4:14Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu; 277:27 Leev 16:6,15atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw’ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 287:28 Beb 5:1,2Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.