Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
16:1 Beb 9:14Kale tuleke okwogera ku bigambo eby’olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n’okukkiriza eri Katonda, 2okuyigiriza okw’okubatiza, n’okuteekako emikono, n’okuzuukira kw’abafu, n’omusango ogutaggwaawo. 3Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw’anaayagala. 46:4 Beb 10:26,27, Mat 12:31, 1 Yok 5:16Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 56:5 1 Peet 2:3ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, 6ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw’okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw’okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu. 76:7 Lub 1:11,12Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n’ebala enva ezibasaanira abo b’erimirwa, efuna omugabo gw’omukisa eri Katonda: 86:8 Lub 3:17,18naye bw’ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n’okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.
9Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n’obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo: 106:10 Beb 10:32-34kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. 116:11 Beb 3:14, Baf 1:6Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw’okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero: 12mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw’okukkiriza n’okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.
136:13 Lub 22:16,17Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw’ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka 14ng’ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n’okwaza nnaakwazanga. 15Bw’atyo bwe yamala okugumiikiriza n’aweebwa ekyasuubizibwa. 166:16 Kuv 22:10Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa. 17Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng’ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab’ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka: 186:18 Kubal 23:19, 1 Sam 15:29olw’ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by’atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n’ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe; 196:19 Leev 16:2,12lye tulina ng’essika ery’obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu, era eriyingira munda w’eggigi; 206:20 Beb 5:6Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.