Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
1Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw’aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw’ebibi: 25:2 Beb 4:15ayinza okukwata empola abatamanyi n’abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu; 35:3 Leev 9:7; 16:6era olw’obwo kimugwanira nga ku lw’abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw’ebibi. 45:4 Kuv 28:1, 1 Peet 2:3So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng’ayitiddwa Katonda, era nga Alooni. 55:5 Zab 2:7, Bik 13:33Era bw’atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti
Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde ggwe:
65:6 Beb 7:1, Zab 110:4era nga bw’ayogera awalala nti
Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeki bw’eri.
75:7 Mat 26:39-46Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n’okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n’okukaaba ennyo n’amaziga, era bwe yawulirwa olw’okutya kwe Katonda, 85:8 Baf 2:8newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona: 95:9 Is 45:17, Yok 17:1,5awo bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka ensonga y’obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira; 10Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.
11Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b’amatu. 125:12 1 Kol 3:1-3, 1 Peet 2:2Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw’ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby’olubereberye eby’ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo. 135:13 Bef 4:14Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto. 145:14 Baf 1:10, Bar 16:19, Lub 2:17Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw’okugakoza okwawulanga obulungi n’obubi.