Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 Zab 95:11Kale tutyenga nti okusuubiza okw’okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko. 2Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky’okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n’abo abaawulira. 3Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti
Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange,
Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng’emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw’ensi.
44:4 Lub 2:2Kubanga waliwo w’ayogerera ku lunaku olw’omusanvu bw’ati, nti Katonda n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu mu mirimu gye gyonna; 5era nate ne mu kino nti
Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
6Kale kubang kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n’abo abaasooka okubuulirwa enjiri ne batayingira olw’obutagonda, 7nate ayawula olunaku gundi, ng’ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw’ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye,
Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Temukakanyaza mitima gyammwe.
84:8 Ma 31:7, Yos 22:4Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw’ebyo. 9Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. 104:10 Kub 14:13Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng’awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. 11Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey’obutagonda. 124:12 Yer 23:29, Is 49:2, Bef 6:17, Yok 12:48, Kub 19:15Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima. 13So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.
144:14 Beb 3:1; 6:20; 7:26; 8:1; 9:11Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe. 154:15 Beb 2:17Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi. 164:16 1 Yok 3:21, Bar 3:25Kale tusemberenga n’obuvumu eri entebe ey’ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw’okubeerwa bwe tukwetaaga.