Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Beb 4:14Kale, ab’oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow’eddiini bwe twatula, Yesu; 23:2 Kubal 12:7eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna. 3Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng’azimba ennyumba bw’abeera n’ettendo eringi okusinga ennyumba. 4Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda. 53:5 Kubal 12:7Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng’omuddu, olw’okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa; 63:6 Bef 2:19, Bak 1:23naye Kristo yali mwesigwa ye ng’omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y’oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n’okwenyumiriza okw’okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero. 73:7 Zab 95:7-11Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw’ayogera nti
Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
83:8 Kuv 17:7, Kubal 20:2-5Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa,
Nga ku lunaku olw’okukemerwa mu ddungu,
9Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza,
Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana.
10Kyennava nnyiigira emirembe egyo,
Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe:
Naye abo tebaategeera makubo gange;
113:11 Kubal 14:21,23Nga bwe nnalayira mu busungu bwange,
Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
12Mwekuume, ab’oluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw’okuva ku Katonda omulamu: 133:13 1 Bas 5:11naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n’obulimba bw’ekibi: 143:14 Beb 6:11; 11:1Kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero: 153:15 Zab 95:8nga bwe kikyayogerwa nti
Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.
163:16 Kuv 17:1Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 173:17 Kubal 14:29Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n’emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu? 183:18 Kubal 14:22,23Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda? 19Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw’obutakkiriza.