Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
1Kyekivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge tuwaba ne tubivaako. 22:2 Bik 7:38,53, Bag 3:19Kuba oba ng’ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n’obutawulira byaweebwanga empeera ey’ensonga; 32:3 Beb 10:29; 12:25ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira; 42:4 Mak 16:20, 1 Kol 12:4,11era Katonda ng’ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by’amagero era ne mu by’amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby’Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga yekka.
5Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako. 62:6 Zab 8:4-6Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng’ayogera nti
Omuntu kiki, ggwe okumujjukira?
Oba omwana w’omuntu, ggwe okumujjira?
7Wamukola okubulako akatono okuba nga bamalayika;
Wamussaako engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
N’omufuza emirimu egy’emikono gyo:
82:8 1 Kol 15:27Wateeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 92:9 Baf 2:8,9Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw’okubonaabona okw’okufa ng’assibwako engule ey’ekitiibwa n’ettendo, olw’ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu. 102:10 Bar 11:36Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng’aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w’obulokozi bwabwe olw’ebibonoobono. 112:11 Mak 3:34,35, Mat 25:40, Yok 20:17Kubanga oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa b’omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab’oluganda, 122:12 Zab 22:22ng’ayogera nti
Ndibuulira baganda bange erinnya lyo,
Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.
132:13 Is 8:17,18, 2 Sam 22:3Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n’abaana Katonda be yampa. 142:14 2 Tim 1:10, Yok 12:31, Kub 12:10, 1 Kol 15:56Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n’omubiri, era naye yennyini bw’atyo yagatta ebyo; olw’okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag’okufa, ye Setaani; 15era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entiisa y’okufa. 162:16 Beb 4:15Kubanga mazima bamalayika si b’ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow’ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda olw’okutangirira ebibi by’abantu. 182:18 Beb 4:15Kubanga olw’okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng’akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.