Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

13
113:1 Yok 13:34, 2 Peet 1:7Okwagala ab’oluganda kubeerengawo. 213:2 Bar 12:13, 1 Peet 4:9, Lub 18:3; 19:2,3Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw’okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi. 313:3 Mat 25:36Mujjukirenga abasibe, ng’abasibirwa awamu nabo; era n’abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri. 413:4 Bag 5:19,21, Bef 5:5Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango. 513:5 Ma 31:6,8, Yos 1:5, 1 Tim 6:6Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono. 613:6 Zab 118:6N’okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti
Mukama ye mubeezi wange; ssiritya:
Omuntu alinkola ki?
713:7 1 Kol 4:16Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y’empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe. 813:8 1 Kol 3:11, Kub 1:17Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n’okutuusa emirembe n’emirembe. 913:9 Bef 4:14, Bar 14:17, 2 Kol 1:21Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n’ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez’okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu. 1013:10 Beb 8:4,5Tulina ekyoto abaweereza eby’omu weema kye batalagirwa kuliirangako. 1113:11 Leev 16:27Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw’ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira. 1213:12 Mat 21:39, Yok 9:22Era ne Yesu kyeyava abonabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n’omusaayi gwe ye. 13Kale tufulume okugenda gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye. 1413:14 Beb 11:10; 12:22Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja. 1513:15 Leev 7:12, 2 Byom 29:31, Zab 50:14,23, Is 57:19, Kos 14:2Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye. 1613:16 Baf 4:18Naye okukola obulungi n’okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo zisanyusa nnyo Katonda. 1713:17 1 Bas 5:12, Ez 3:17Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.
1813:18 2 Kol 1:12, Bik 24:16Mutusabirenga: kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n’empisa ennungi mu byonna. 19Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
2013:20 Is 63:11; 55:3, Zek 9:11, Yer 32:40, Ez 37:26, Yok 10:11, 1 Peet 2:25Naye Katonda ow’emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w’endiga omukulu olw’omusaayi ogw’endagaano ey’olubeerera, ye Mukama waffe Yesu, 21abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by’ayagala, ng’akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
2213:22 Yak 1:21Naye mbabuulirira, ab’oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky’okubuulirira: kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono. 23Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw’alijja amangu, ndibalabira wamu naye.
24Mulamuse bonna abafuga, n’abatukuvu bonna. Ab’omu Italiya babalamusizza.
25Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.