Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

12
112:1 Beb 10:36, Bar 7:21, 1 Kol 9:24Kale naffe, bwe tulina olufu lw’abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n’ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n’okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe, 212:2 Beb 2:10, Zab 110:1nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda. 312:3 Luk 2:34Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez’abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe. 4Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n’ekibi: 512:5 Nge 3:11,12era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng’abaana nti
Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
So toddiriranga bw’akunenyanga;
612:6 Kub 3:19Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era akuba buli mwana gw’akkiriza.
7Olw’okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng’abaana; kuba mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 812:8 Zab 73:14,15Naye bwe munaabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana. 912:9 Kubal 16:22Nate twalina bakitaffe ab’omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w’emyoyo, ne tuba abalamu? 10Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw’okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw’okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe. 1112:11 2 Kol 4:17,18, Yak 3:18Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu. 1212:12 Is 35:3Kale mugololenga emikono egirengejja, n’amaviivi agakozimba; 1312:13 Nge 4:26era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
1412:14 Zab 34:14, Mat 5:8, Bar 12:18, 2 Tim 2:22Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n’obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama: 1512:15 Ma 29:18, Bik 8:23nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky’okukaawa kiremenga okuloka n’okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi; 1612:16 Lub 25:33,34walemenga okubeera omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw’akawumbo k’emmere akamu. 1712:17 Lub 27:30-40Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n’agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n’amaziga.
1812:18 Kuv 19:12,16,18, Ma 4:11Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n’omuliro, n’eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga, 1912:19 Kuv 19:19; 20:19, Ma 5:23n’okuvuga kw’ekkondeere, n’eddoboozi ly’ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri: 2012:20 Kuv 19:13kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n’ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja: 2112:21 Ma 9:19n’ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n’okugamba n’agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye: 2212:22 Kub 14:1; 21:2; 5:11, Bag 4:26naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky’omu ggulu, n’eri obukumi bwa bamalayika, 2312:23 Luk 10:20eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey’ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo gy’abatuukirivu abaatuukirizibwa, 2412:24 Beb 9:15; 11:4, Lub 4:10, 1 Peet 1:2n’eri Yesu omubaka w’endagaano empya, n’eri omusaayi ogw’okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri. 2512:25 Beb 2:2; 10:28,29Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng’ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng’ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: 2612:26 Kag 2:6eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 2912:29 Is 33:14, Ma 4:24; 9:3kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.