Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

10
110:1 Beb 8:5; 7:19Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera. 2Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo? kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. 310:3 Leev 16:21Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. 4Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi. 510:5 Zab 40:6-8Ng’ajja mu nsi, kyava ayogera nti
Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala,
Naye wanteekerateekera omubiri;
6Tewasiima ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi;
7Ne ndyoka njogera nti Laba, nzize
(Mu muzingo gw’ekitabo ekyampandiikwako)
Okukola by’oyagala, ai Katonda.
8Bw’ayogera waggulu nti Ssaddaaka n’ebiweebwayo n’ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng’amateeka bwe gali), 9n’alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by’oyagala. Aggyawo eky’olubereberye, alyoke anyweze eky’okubiri. 1010:10 Beb 9:12,28Mu ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu. 1110:11 Kuv 29:38Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza ng’awaayo emirundi emingi ssaddaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna: 12naye oyo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; 1310:13 Zab 110:1ng’alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye. 14Kubanga olw’okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa. 15Era n’Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw’amala okwogera nti
16Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo
Oluvannyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukama;
Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe,
Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;10:16 Beb 8:10, Yer 31:33
n’alyoka ayogera nti
1710:17 Beb 8:12, Yer 31:34N’ebibi byabwe n’obujeemu bwabwe siribijjukira nate.
18Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw’ekibi.
1910:19 Mat 27:51Kale ab’oluganda, bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 2010:20 Beb 9:8mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe; 2110:21 Zek 6:11, Kubal 12:7era bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda; 2210:22 Ez 36:25, Bef 5:26tusemberenga n’omwoyo ogw’amazima olw’okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga gimansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n’emibiri gyaffe nga ginaazibwa n’amazzi amalungi: 2310:23 Beb 4:14tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa: 2410:24 Beb 13:1era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; 2510:25 Beb 3:13obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
2610:26 Kubal 15:30; 35:30, Ma 17:6Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw’ebibi, 27wabula okulindirira n’obuti omusango, n’obukambwe obw’omuliro ogugenda okwokya abalabe. 28Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw’abajulirwa ababiri oba basatu: 2910:29 Kuv 24:8, Beb 2:3mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw’alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n’alowooza omusaayi gw’endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n’agirira ekyejo Omwoyo ow’ekisa? 3010:30 Ma 32:35,36, Zab 135:14, Bar 12:19Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be. 3110:31 Beb 12:29Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.
3210:32 Beb 6:4Naye mujjukire ennaku ez’edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw’ebibonoobono; 3310:33 1 Kol 4:9olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw’ebivume n’okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n’abo abaakolerwa ebyo. 3410:34 Mat 6:20; 19:21,29Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby’olubeerera. 3510:35 Beb 11:6Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene. 3610:36 Beb 6:12, Luk 21:19Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by’ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.
3710:37 Is 26:20, Kaab 2:3, Luk 21:28, Yak 5:8Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo,
Ajja alituuka, so talirwa.
3810:38 Bar 1:17, Bag 3:11Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza:
Era bw’addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.
39Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw’okulokola obulamu.