Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
1Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi, 21:2 Zab 2:8, Yok 1:3, Bak 1:16, Mat 21:38mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna; 31:3 Zab 110:1, 2 Kol 4:4, Bak 1:15, Mak 16:19, Beb 9:14,26oyo bw’ali okumasamasa kw’ekitiibwa kye n’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era bw’asitula ebintu byonna n’ekigambo eky’obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky’okunaaza ebibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’Obukulu waggulu; 41:4 Baf 2:9ng’asinga obulungi bamalayika bw’ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo. 51:5 Zab 2:7, 2 Sam 7:14, Beb 5:5, Bik 13:33Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti
Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde ggwe? era nate nti
Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali,
Naye anaabeeranga mwana gye ndi?
61:6 Bar 8:29, Zab 97:7Era nate bw’aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.
71:7 Zab 104:4Era ayogera ku bamalayika nti
Afuula bamalayika be empewo,
N’abaweereza be ennimi z’omuliro:
81:8 Zab 45:6,7naye ku Mwana ayogera nti
Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
N’omuggo ogw’obugolokofu gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9Wayagala obutuukirivu, n’okyawa obujeemu;
Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako
Amafuta ag’okusanyuka okusinga banno.
101:10 Zab 102:25-27Era nti
Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy’ensi,
N’eggulu mulimu gwa mikono gyo:
11Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera:
N’ebyo byonna birikaddiwa ng’ekyambalo;
12Era olibizinga ng’essuuka,
Ng’ekyambalo, ne biwaanyisibwa:
Naye ggwe oba bumu,
N’emyaka gyo tegiriggwaawo.
131:13 Zab 110:1Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo?
141:14 Dan 7:10, Zab 34:7; 91:11Bonna si gy’emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw’abo abagenda okusikira obulokozi?