Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
16:1 Mat 18:15, Yak 5:19Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’ayonoonye, mmwe ab’omwoyo mumulongoosenga ali bw’atyo mu mwoyo gw’obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa. 2Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. 3Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba. 46:4 2 Kol 13:5Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n’okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. 56:5 Bar 14:12Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.
66:6 1 Kol 9:14Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n’oyo ayigiriza mu birungi byonna. 7Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula. 86:8 Bar 8:13, Yok 6:63; 3:6Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo. 96:9 2 Bas 3:13Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise. 106:10 2 Peet 1:7Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.
11Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n’omukono gwange nze. 126:12 Bag 5:11, Baf 3:18Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga; kyokka balemenga okuyigganyizibwa olw’omusalaba gwa Kristo. 13Kubanga era n’abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. 146:14 1 Kol 1:31; 2:2Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe yesu Kristo; olw’ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi. 156:15 Bag 5:6, 1 Kol 7:19, Baf 3:3Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya. 166:16 Zab 125:5N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.
176:17 2 Kol 4:10Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange.
18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n’omwoyo gwammwe, ab’oluganda. Amiina.