Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 1:11,12Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu), 2n’ab’oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez’e Ggalatiya: 31:3 Bar 1:7ekisa kibenga gye muli n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, 41:4 Bag 2:20, 1 Tim 2:6, Tit 2:14, 1 Yok 5:19eyeewaayo olw’ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe: 5aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
6Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala; 71:7 Bik 15:1,24si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo. 81:8 1 Kol 16:22Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw’abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga. 9Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw’ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga. 101:10 1 Bas 2:4Kubanga kaakano mpembera bantu nantiki Katonda? Nantiki nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nnali nga nkyasiimibwa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.
11Kubanga mbategeeza, ab’oluganda, nti enjiri eyabuulirwa nze si ya buntu: 12kubanga nange ssaagiweebwa muntu so siyigirizibwanga, wabula mu kubikkulirwa kwa Yesu Kristo. 131:13 Bik 26:4-20Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z’Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga, 141:14 Bik 22:3ne mpitirizanga mu mpisa z’Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n’obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange. 151:15 Bar 1:1, Yer 1:5, Is 49:1Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 161:16 Bag 2:7, Mat 16:17okubikkulira Omwana we mu nze, ndyoke mmubuulirenga mu b’amawanga; amangu ago ssaateesa na mubiri wadde na musaayi: 17so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko.
181:18 Bik 9:26Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmalayo gy’ali ennaku kkumi na ttaano. 191:19 Mat 13:55Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20Kale, bye mpandiika, laba, mu maaso ga Katonda ssirimba. 211:21 Bik 9:30Awo ne ŋŋenda mu njuyi ez’e Busuuli ne Kirukiya. 22Ne mba nga sinnaba kutegeerebwa mu maaso g’ekkanisa ez’e Buyudaaya eziri mu Kristo: 23naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda; 24ne bagulumiza Katonda ku lwange.