Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
16:1 Bak 3:20Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. 2Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza), 36:3 Ma 5:16olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi. 46:4 Bak 3:21, Is 50:5, Nge 2:2; 3:11; 19:18, Ma 6:7,20-25, Zab 78:4Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe, naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.
56:5 Bak 3:22-25, Tit 2:9,10, 1 Peet 2:18Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omubiri nga mulina okutya n’okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo; 6si nga mu kuweereza okw’okungulu, ng’abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng’abaddu ba Kristo, nga mukolanga n’omwoyo Katonda by’ayagala, 7nga muweerezanga n’okwagala nga Mukama waffe so si bantu: 86:8 2 Kol 5:10nga mumanyi nti buli muntu ekirungi ky’akola, ky’aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe. 96:9 Bak 4:1, 2 Byom 19:7, Bik 10:34Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy’ali.
106:10 1 Kol 16:13, 1 Yok 2:14Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 116:11 Bef 4:14, 2 Kol 10:4Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. 126:12 Bef 2:2, Yok 14:30, Bak 1:13, 1 Peet 5:8,9Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu. 136:13 1 Bassek 20:11Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira. 146:14 Is 11:5; 59:17, Luk 12:35, 1 Peet 1:13, 1 Bas 5:8Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky’omu kifuba obutuukirivu, 156:15 Is 52:7; 40:3,9era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw’enjiri ey’emirembe; 166:16 1 Peet 5:9, 1 Yok 5:4era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey’okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi. 176:17 1 Bas 5:8, Kos 6:5, Is 11:4; 49:2; 51:16Muweebwe ne sseppewo ey’obulokovu, n’ekitala eky’Omwoyo, kye kigambo kya Katonda: 186:18 Mat 26:41, Bak 4:2,3nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n’okusaba n’okwegayiriranga kwonna n’okwegayirirrianga abatukuvu kusaba okwo mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna. 196:19 Bak 4:3, 2 Bas 3:1, Bik 4:29era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n’obuvumu ekyama eky’enjiri, 206:20 2 Kol 5:20, Bak 4:4gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n’obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.
216:21 Bik 20:4, Bak 4:7Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow’oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna: 226:22 Bak 4:7,8gwe mbatumidde olw’ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyuse emitima gyammwe.
23Emirembe gibenga eri ab’oluganda, n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 246:24 1 Peet 1:8Ekisa kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo mu butamala.