Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Bef 1:1Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow’oluganda, 21:2 Bar 1:7, Bef 1:2eri abatukuvu, ab’oluganda abeesigwa mu Kristo ab’omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.
31:3 Bef 1:16, 1 Bas 1:2,3Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna, 41:4 1 Kol 13:13, Bef 1:15bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna, 51:5 1 Peet 1:4, Bef 1:13,18olw’essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky’amazima ag’enjiri, 61:6 1 Tim 3:16, Bef 1:13eyajja gye muli; era nga bw’eri mu nsi zonna, ng’ebala ebibala era ng’ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya Katonda mu mazima; 71:7 Bak 4:12nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu munnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe, 8era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.
91:9 Bef 1:8,9,15-17, Baf 1:9Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n’okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’Omwoyo, 101:10 Bef 1:17; 2:10; 4:1, Baf 1:27okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda; 111:11 1 Kol 1:5, Bef 1:18,19; 3:16nga muyinzisibwanga n’obuyinza bwonna, ng’amaanyi ag’ekitiibwa kye bwe gali, olw’okugumiikiriza kwonna n’okuzibiikiriza awamu n’okusanyuka; 121:12 Bef 1:11,18nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw’obusika obw’abatukuvu mu musana, 131:13 Bak 2:15, Luk 22:53, Bef 2:2; 6:12; 1:6eyatulokola mu buyinza obw’ekizikiza, n’atutwala mu bwakabaka obw’Omwana we omwagalwa; 141:14 Bef 1:7mwe tubeerera n’okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw’ebibi byaffe: 151:15 Beb 1:3, 2 Kol 4:4, 1 Tim 6:16, Yok 1:18oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow’ebitonde byonna; 161:16 Yok 1:3,10, Bef 1:10,21kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe; 171:17 Nge 8:25-27, Bef 1:22naye ye w’olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye. 181:18 Bef 1:22; 4:15; 5:23, Bik 4:2; 26:23, Nge 1:5Era oyo gwe mutwe gw’omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow’omu bafu; ye alyoke abeerenga ow’olubereberye mu byonna. 191:19 Bef 1:23, Bak 2:9, Yok 1:16Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; 201:20 Bef 1:7,10; 2:13, 1 Yok 2:2n’okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw’omusaayi gw’omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby’oku nsi oba eby’omu ggulu. 211:21 Bef 2:1,12; 4:18, Bar 5:10Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa 221:22 Bef 2:11,14,16; 5:27mu mubiri ogw’ennyama ye olw’okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge: 231:23 Mak 16:15, 1 Tim 3:16, Bef 3:17, Beb 3:14bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly’enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.
241:24 Bef 3:1,13Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw’omubiri gwe, ye kkanisa; 251:25 Bef 3:2,7,8nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng’obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, 261:26 Bar 16:25,26ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda n’emirembe n’emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be, 271:27 1 Tim 1:1, Bar 16:25, Bef 3:9; 1:18Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw’ekitiibwa eky’ekyama kino bwe buli mu b’amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery’ekitiibwa: 281:28 Bef 4:13gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng’atuukiridde mu Kristo; 291:29 Baf 4:13, Bef 3:7,20n’okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng’okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n’amaanyi.