Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

8
18:1 Bik 7:58; 11:19; 22:20Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe.
Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z’e Buyudaaya n’e Samaliya, wabula abatume. 28:2 Mat 14:12Abantu abaatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo. 38:3 Bik 9:1; 22:4Naye Sawulo n’agirira ekkanisa ekyejo kingi, ng’ayingira mu buli nju, ng’awalula abasajja n’abakazi n’abateeka mu kkomera.
4Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo. 58:5 Bik 6:5Firipo n’aserengeta mu kibuga eky’e Samaliya, n’ababuulira Kristo. 6Ebibiina ne biwulira n’omwoyo gumu ebigambo Firipo by’ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby’amagero ge yakolanga. 78:7 Mak 16:17Kubanga bangi ku bo abaaliko dayimooni, ne babavangako nga bakaaba n’eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n’abalema. 88:8 Yok 4:40-42Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo.
9Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n’awuniikirizanga eggwanga ly’e Samaliya, ng’agamba nti ye mukulu; 10ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi. 11Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n’okuloga kwe. 128:12 Mat 28:19Naye bwe bakkiriza Firipo ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n’abakazi. 13Era ne Simooni yennyini n’akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n’abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby’amagero n’obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.
148:14 Bik 3:1Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu: 16kubanga yali tannaba kubakkako n’omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 178:17 1 Tim 4:14Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu. 18Naye Simooni bwe yalaba ng’olw’okussibwako emikono gy’abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n’abaleetera effeeza 19ng’agamba nti Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu. 20Naye Peetero n’amugamba nti Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n’ebintu. 218:21 Zab 78:37, Bef 5:5Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda. 22Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky’omu mutima gwo. 238:23 Ma 29:18, Is 58:6, Beb 12:15Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y’obubi. 24Simooni n’addamu n’agamba nti Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n’ekimu.
25Awo bwe baamala okutegeeza n’okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nnyingi ez’Abasamaliya.
26Naye malayika wa Mukama n’agamba Firipo ng’ayogera nti Golokoka, ogende obukiika obwa ddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza: ekkubo eryo lya ddungu. 278:27 Is 56:3-7N’agolokoka n’agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow’Abaesiyopya, eyali omuwanika w’ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza, 28yali addayo n’atuula mu ggaali lye, n’asoma nnabi Isaaya. 29Omwoyo n’agamba Firipo nti Sembera, weegatte n’eggaali eryo. 30N’adduka Firipo n’amuwulira ng’asoma nnabbi Isaaya, n’agamba nti Obitegedde by’osoma? 318:31 Yok 16:13N’agamba nti Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira? Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye. 328:32 Is 53:7,8Mu kifo awaawandiikibwa we yali asoma we wagamba nti
Yatwalibwa okuttibwa ng’endiga,
Era ng’omwana gw’endiga mu maaso g’omusazi w’ebyoya bwe gusirika,
Bwe kityo teyayasamya kamwa ke:
33Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo:
Ekika kye ani alikinnyonnyola?
Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
34Omulaawe n’addamu Firipo n’agamba nti Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Bibye yekka oba bya muntu mulala? 35Firipo n’ayasama akamwa ke n’asookera ku kyawandiikibwa kino n’amubuulira Yesu. 368:36 Bik 10:47Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n’agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa? [37Firipo n’agamba nti Oba ng’okkirizza n’omutima gwo gwonna, kirungi. N’addamu n’agamba nti Nzikkirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.] 38N’alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi. Firipo n’omulaawe; n’amubatiza. 398:39 1 Bassek 18:12Bwe baava mu mazzi, Omwoyo gwa Mukama n’atwala Firipo, omulaawe n’atamulaba nate: kubanga yagenda ng’asanyuka. 408:40 Bik 21:8,9Naye Firipo yalabikira mu Azoto: bwe yayita n’abuulira mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaliya.